Bbomu 4 zisangiddwa mu muzigo e Komamboga

May 06, 2024

ABATUUZE b’e Komamboga mu Kwata zzooni baasattidde bbomu 4 enkolerere bwe zikukunuddwa mu kazigo k’omutuuze. Amagye ne Poliisi gaayungudde abawanvu n’abampi abantu b’omu Zzooni ne balagirwa okwamuka amaka gaabwe, okusobozesa amagye okuzitegulula.

Abeebyokwerinda nga beebunguludde omuzigo omwasangiddwa bbomu enkolerere

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

ABATUUZE b’e Komamboga mu Kwata zzooni baasattidde bbomu 4 enkolerere bwe zikukunuddwa mu kazigo k’omutuuze. Amagye ne Poliisi gaayungudde abawanvu n’abampi abantu b’omu Zzooni ne balagirwa okwamuka amaka gaabwe, okusobozesa amagye okuzitegulula.
Bino byabaddewo mu matulutulu ku Lwomukaaga, amagye ne Poliisi bwe bakonkonyenga abantu nga bakyebase baamuke amayumba, olwo ng’omuzigo omuli bbomu gwebunguluddwa ab’emmundu ab’ekitongole ekirwanyisa obutujju.
Ng’abantu bavudde mu mayumba gaabwe amagye gaayingidde mu muzigo gye baasanze bbomu 4 eziwedde okukola, ebintu ebikozesebwa mu kuweesa bbomu enkolerere omwabadde amanda g’amasimu, ebintu eby’obuwunga, amasimu,n emikebe okwabadde kuyungiddwa waaya ezikola ng’emanduuso mu kutegulula bbomu zino, amasasi ssaako magazine y’emmundu ekika ka pisito.
Kigambibwa nti abavubuka abapangisa omuzigo guno be bamu ku b’akabinja ka ADF akaludde nga kenyigira mu bikolwa by’obutujju. Omwogezi wa UPDF Brig, Felix Kulaigye yannyonnyodde nti embeera kati eri mu nteeko n’asaba abatuuze okubeera obulindaala ku bantu abajja mu bitundu byabwe nga tebategeerekeka.
Yagambye nti waliwo abantu be baakwata okuli Augustine Kalanzi nga yakwatibwa Masaka, SulaimanNsubuga nga yakwatibwa Busia, Swaleh Abubaker gwe baakwatira e Zambia, nti baaloopye Med Nsubuga Nkalubo nti y’ali emabega w’akabinja akatega bbomu nga yeekwese mu DRC.
Ssentebe w’ekyalo kino Fred Ssekyondwa yategezezza nga abebyokwerinda bwe baamutuukiridde ne bamutegeeza nga bwe waliwo abantu be banoonya mu kitundu abagambibwa okwenyigira mu bikolwa by’obutujju era batandise omuyiggo
okutuusa lwe batuuse ku muzigo guno.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});