Ab'e Maganjo baweereddwa omusomo gw'okubala abantu

May 06, 2024

ABATUUZE basabidwa okukolagana n’abagenda okusindikibwa mu byalo okubala abantu mu ntekateeka ya gavumenti ey’okubala abantu bonna mu ggwanga nga babawa obutuufu byebyo ebinababuzibwa.

Abatuuze be Maganjo nga bali mu meeting

Sumayiya Nakatta
Journalist @Bukedde

ABATUUZE basabidwa okukolagana n’abagenda okusindikibwa mu byalo okubala abantu mu ntekateeka ya gavumenti ey’okubala abantu bonna mu ggwanga nga babawa obutuufu byebyo ebinababuzibwa.

 

Bino byogeddwa kansala akiikirira Kagoma A ku lukiiko lwa munisipaali ye Nansana Musa Galiwango mu lukiiko lw’ekyalo olwayitidwa ssentebe wa Maganjo A Godfrey Kambugu okusomesa abatuuze ku ntekateeka ya gavumenti mwegenda okuyita okubala Bannayuganda bonna.

 

Galiwango yategeezeza nti abantu 700 bebasuubirwa okusindikibwa okubala abantu mu gombolola ye Nabweru n’asaba abantu okuddamu ebyo ebinababuuzibwa mu butuufu bwabyo kuba bino byakuyamba gavumenti okuteekerarekera abantu nga okubala kwakutandika nga May 10 2024 okutuusa nga 19.

 

Yagasseeko nti buli maka aganaabalibwa okubalibwa gakuwandikibwako okusobola okusobozesa abali ku mulimu guno obutabuzabuzibwa ne webabeera bamaze n’asaba abatuuze obutasimuula byebanabeera bawandiise kunju zaabwe okutuusa nga entekateka eno nga emaze okulangirirwa nti ewedde.

 

Kambugu yasabye abantu obutaggalawo nga bazze okubabala kuba buvunanyizibwa bwa gavumenti okubala abantu okusobola okumanya abantu abali mu ggwanga nga kibakakatako bon ga abatuuze okukwatagana n’abagenda okubabala era babanirize nga babatuseeko.

 

Galiwango yategeezeza nti abagenda okubala bakubeera mu yunifoomu era nga tebakirizibwa kuyingira munju wabula bakubabuuza bibuuzo abatuuze byebasaanye okuddamu mubulambulukufu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});