Ab'e Kasese baakuganyulwa mu nguudo ezigenda okukolebwa e Congo

Aug 27, 2021

OBUKADDE bwa ddoola 330 bwe bugenda okweyambisibwa okukola enguudo 3 ezigatta Uganda ku Congo   nga buli lumu lulina obuwanvu bwa kirommita 223.

Ab'e Kasese baakuganyulwa mu nguudo ezigenda okukolebwa e Congo

Edith Namayanja
Journalist @Bukedde

Bino byayogerwa pulezidenti Museveni mu June w'omwaka guno bwe yali atongoza okukola enguudo zino wamu n'omukulembeze w'eggwanga lya Congo Felix Tshisekedi era nga Uganda yakussaamu ebintu 20 ku 100 ku ssente zino.

 

Omubaka Kambale ng'ayogera

Omubaka Kambale ng'ayogera

 munisipaali y'e Kasese Ferigo Kambale (NRM)ategeezezza nga kino bwe kigenda okumalawo obumulu naddala mu byokwerinda wakati w'amawanga gombi kubanga  kyakwongera okunnyikiza obwasseruganda.

Kambale bino abyogeredde ku Fairway Hotel mu Kampala bw’abadde agattawo enkolagana wakati we n'ekitongole kya Uganda Council on Foreign Affairs ekiwa omwagaanya eri buli muntu oba ekitongole okwogera ku bizimba eggwanga..

Abamu ku baabaddeyo mu mukolo guno

Abamu ku baabaddeyo mu mukolo guno

Kambale yayongeddeko nti Bannayuganda naddala e Kasese bagenda okufuna emirimu nga enguudo zino zikolebwa  n'okufuna akatale k'ebyamaguzi naddala mu kiseera kino nga Kenya yateeka envumbo ku bintu ebimu okuyingira ensi yaabwe okuva mu Uganda gye buvuddeko.

Congo erimu abantu abasoba mu bukadde 105 nga ssinga Bannayuganda bongera okutwala ebyamaguzi byabwe mu ggwanga lino kyandiyamba ku nnyingiza y'eggwanga n'ebannansi okukulaakulanira awamu.

Ebyabaddeyo mu lukiiko

Ebyabaddeyo mu lukiiko

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});