Suzan Kushaba akulembeddemu aboobutale mukusabira Pulezidenti Museveni okussuuka

ABASUUBUZI abakolera mu butale bwa KCCA nga bakulembeddwamu Suzan Kushaba beegasse ku bantu abalala okukowoola omutonzi okussuusa pulezidenti Museveni ekirwadde kya Corona ekimubala embirizi.   Suzan Kushaba akulembeddemu aboobutale mukusabira Pulezidenti Museveni okussuuka

Suzan Kushaba ne Kimbowa nga bateeka obubka ku kipande kya Museveni
By Patrick Kibirango and Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ABASUUBUZI abakolera mu butale bwa KCCA nga bakulembeddwamu Suzan Kushaba beegasse ku bantu abalala okukowoola omutonzi okussuusa pulezidenti Museveni ekirwadde kya Corona ekimubala embirizi.

Kimbowa ng'asabira Pulezidenti Museveni

Kimbowa ng'asabira Pulezidenti Museveni

Abasuubuzi bano ab’egattira mu kibiina ki KCCA Market Fraternity nga bali wamu n’abakyala ba Uganda aba National Women Council of Uganda ababadde bakulembeddwamu Faridah Kimbowa leero batambudde okugenda ku maka g’obwa pulezidemnti e Nakasero.

Eno bagenze n’ebipande ebiriko obubaka obusaasira omukulembeze n’okuwanjagira katonda okusuusa pulezidenti akomewo alamule eggwange Uganda.

Kushaba akubidde bannayuganda omulanga ababadde babalaatira mu bulwadde bwa pulezidenti Museveni nga bawoza mbu ssimulwadde n’abasaba okukikomya kubanga eno nsonga ya bya bulamu.

Suzan Kushaba ng'awandiika obubaka obusaasira Museveni ku kipande

Suzan Kushaba ng'awandiika obubaka obusaasira Museveni ku kipande

Ye Hajjati, Faridah Kimbowa akulira National Women Council of Uganda, alaze obutali bumativu kwabo abawoza nti pulezidenti yassuuse ate ne basigala nga bamukweka n’asaba nti bwaba nga pulezidenti mulamu bamuggeyo mu kisenge akulembere eggwanga mitima gikke abantu.

Bano bagenze n’ebipande bye basimbye ku geeti ya state house kwebatadde emikono gyabwe ng’akabonero kookulaga nti baatuseeko ku maka g’omukulembeze okumusaasira era baafukamidde ne basabirawo ne ssaala.