WADDE ng’abantu ab’enjawulo bazze balaga obutali bumativu bwabwe olw’embeera enguudo z’e Kampala mweziri, abakulira ekitongole kya KCCA bagamba nti basanyufu olw’ekiragiro kya Pulezidenti kye yawadde minisitule y’eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga okubawa obuwumbi mukaaga bakole ku binnya.
Enguudo eziri mu Kampala ziwerako obuwanvu bwa kiromita 2100kms nga ku zino, kiromita 650kms, ezikola ebitundu 30 ku buli kikumi ziri mu mbeera nnungi.
Enguudo endala ezikola ebitundu 50 ku buli kikumi eziri mu mbeera embi, kyazuuliddwa nga mu kuzikola baali bazibaliridde okuwangaala wakati w’emyaka 10 ku 15, kyokka nga mu kiseera kino zakamala emyaka egisoba mu 35 nga teziddangamu kukolebwa.
Ekirala, enguudo ezisinga mu Kampala nnyimpi nga ziri wakati wa kiromita 500 ne kiro mita emu. Nga bwekirambikiddwa, ebitundu 50 ku buli kikumi ez’enguudo mu Kamapala ziri mu mbeer mbi nnyo. Wabula enguudo eziwerako kiro mita 300km2, abatwala ekibuga bagamba nti zo ziri mu mbeera nnungi.
Nnankulu wa KCCA Dorothy Kisaka agamba nti wadde nga Bannakampala banyiivu, abasabye bakkakkane kubanga obuwumbi omukaaga Pulezidenti bwe yalagidde babawe, bagenda kubukozesa bulungi okuziba ebinnya mu nguudo ez’enjawulo embeera edde mu nteeko.
Yategeezezza nti batunuulidde okukola ku binnya ebiweza obugazi bwa sikweya mita 25000 okwetoloola Divisoni ettaano ezikola Kampala.