Poliisi eremedde ssente za Sseggona ze yanunudde

Mar 22, 2024

OLUVANNYUMA lwa Medard Lubega Sseggona (Busiro East) okukitegeera nga poliisi bwe yabadde enunudde obukadde 85 ku ezo 118 ezaabadde zimubbiddwaako, yakedde ku poliisi ku Lwokusatu ng’ayagala bazimuwe

Poliisi eremedde ssente za Sseggona ze yanunudde

Martin Kizza ne Kizito Musoke
Journalist @Bukedde

OLUVANNYUMA lwa Medard Lubega Sseggona (Busiro East) okukitegeera nga poliisi bwe yabadde enunudde obukadde 85 ku ezo 118 ezaabadde zimubbiddwaako, yakedde ku poliisi ku Lwokusatu ng’ayagala bazimuwe kyokka ne bagaana.

Kyaddiridde poliisi okukwata bakanaabe abagambibwa okubba ssente mu mmotoka ya Sseggona.

Poliisi be yakutte kuliko; Jordan Asiimwe ow’e Kinaawa eyabatutte mu nnyumba ya nnyina ne bakukunulayo obukadde 35 mu siiringi ate John Vinanney Kibaale yabatutte gye bamuzaala e Kalagala - Mpigi ne baggyayo obukadde 50 ze yabadde akukulidde. Munnaabwe omulala ye Emmanuel Migadde.

Sseggona bw'afaanana.

Sseggona bw'afaanana.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi terina lukusa lugaanira oba okugaba ekizibiti n’ategeeza nti obuyinza buli mu mikono gya ofiisi y’omuwaabi w’emisango gya Gavumenti.

“Okunoonyereza kukyagenda mu maaso, ate naye amanyi amateeka, tetulina lukusa lumuddiza ssente okuggyako nga tufunye ekiragiro okuva ew’omuwaabi wa Gavumenti,” Owoyesigyire bwe yagambye.

Yayongeddeko nti ssente ze basobola okuzimuwa n’omusango ne bwe gubeera nga tegunnaggwa kubanga kye beetaagako ze nnamba ezaawula buli kapapula ka ssente (Serial number) ze beetaaga mu kkooti.

Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti oluvannyuma lw’okukwata bakanaabe ku Lwokubiri, Sseggona yakedde ku CPS mu Kampala n’agenda mu ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano ng’ayagala bamuddize ssente ezaabadde zizuuliddwa.

Yabategeezezza nga bwe yabadde alina eby’okukolako ebikulu ebyetaagisa ssente ez’obuliwo ze yabadde talina. Wadde nga yafubye okunnyonnyolwa, naye tebaamuwadde ssente ne bamutegeeza ng’abasibe bwe bagenda okutwalibwa mu kkooti ekiseera kyonna.

Ssente ze baabakutte nazo baabadde balina okuzikozesa ng’ebizibiti mu kkooti. Sseggona bwe yabadde atangaaza ku ngeri gye baamubbamu, yategeezezza bannamawulire nga bwe kimuluma okulaba ng’omuntu eyabbibwa ate abamu gwe bafudde ekisekererwa.

Yagambye nti okumubba yali mu mmotoka ye ng’ali ku ssimu ng’eno bakanaabe bwe bagyoza. Ssente zino yalina bye yali agenda okuzikozesa.

“Abantu balinga abagamba nti omukulembeze ye talina kubeera na ssente wadde ebintu by’atunda wadde ng’afuna omusaala. Mbadde nkola okuviira ddala emabega nga sinnabeera mubaka,” bwe yagambye.

Sseggona yeebazizza Katonda n’ategeeza nti n’ezisigaddeyo amanyi ajja kuzifuna kuba Katonda gw’asinza emisana gw’asinza n’ekiro era alina okukkiriza nti ajja kubeera muwanguzi mu byonna.

Ssente ezaamubbiddwaako yagambye nti zaabadde obukadde 118 ng’okusooka zaabadde 120 kyokka obukadde obubiri n’abutoolako ng’aliko omuntu gw’ayagala okusasula.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti abakwate ssente ezimu baabadde bamaze okuzikozesa. Okugeza Kibaale eyabadde akukulidde obukadde 50 e Mpigi, abadde amanyiddwa ng’owaamalibu, naye we baamukwatidde yabadde yaguzeeko dda amannyo amazungu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});