Omusomesa wa Gavumenti akwatiddwa ku bigambibwa okutigaatiga abaana n'okubasobyako

Apr 25, 2024

OMUSOMESA wa Gavumenti eyakwatiddwa poliisi kigambibwa nti amaze omwezi mulamba ng’atigatiga abayizi 7 basomesa ssaako okubakabasanya mu offiisi z’essomero..  

Ssabbiiti agambibwa okusobya ku bayizi

Peter Ssaava
Journalist @Bukedde

OMUSOMESA wa Gavumenti eyakwatiddwa poliisi kigambibwa nti amaze omwezi mulamba ng’atigatiga abayizi 7 basomesa ssaako okubakabasanya mu offiisi z’essomero.

Jimmy Ssabbiiti omusomesa ku ssomero lya Bugujju C/U mu ggombolola ye Masuliita yakumibwa ku poliisi ye Kakiri mu Wakiso oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’ayagala kudduka.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yakakasizza okukwatibwa kwa Ssabbiiti n'agamba nti baamusaliddeko ku ssomero n'atwalibwa ku poliisi ye Masuliita eyamwongeddeyo e Kakiri.

Owoyesigyire yagambye nti poliisi ekyakola okunonyereza ku Ssabbiiti era nga bakumukunya annyonnyole kulwaki abadde akabasanya abayizi bano n’okumukebera obulamu bwe.

Ronald Mwebe amyuka omukulu w’essomero

Ronald Mwebe amyuka omukulu w’essomero

“Twafunye amawulire okuva ku kibiina ky’obwannakyewa era naffe netusitukiramu netugenda tukwata omusomesa. Akumibwa ku poliisi yaffe e Kakiri nga bwetunonyereza era tujja kuba tubabuulira ebisingawo.” Owoyesigyire bweyayongeddeko.

Yayongeddeko nti abayizi ababadde bakabasanyizibwa bali wakati wa myaka 13-16 era nga bano baakebereddwa omusawo wa poliisi omukugu eyatutte ne sampolo z’omusolo gwabwe.

Engeri gye baagudde mu Ssabbiiti;

Abayizi 7 nga basoma P.6 ne P.7 (amannya gasirikiddwa) baategezezza Bukedde nti musomesa wabwe yatandika nakubakwatirira mu kibiina nga bwewabaawo eyesisiggaliza ng’amupacca empi ssaako okumukuba agakonde.

Bano baategezezza nti bweyalaba bayinza okumugwamu, nasalawo ayite ng’omu omu mu ofiisi y’abasomesa nga yefuula alina kyamutumye olwo n’abatigatiga nga bwayisa emikono nti mumpale zaabwe.

Waliwo omuyizi eyalumirizza nti Ssabbiiti yamusaba amuwerekereko okukima ffene mu nnimiro y’essomero kyokka bwe baatuuka eyo n’amujjamu empale kumpaka n’amusobyako. Nti ono yamusaba akole emirimu gya ssenga nti kuba agenda kumuwasa.

Omuyizi omulala eyagambye nti Ssabbiiti yagenda ewabwe nasaba bazadde be obutabaako ssente ze basasula nyi ye agenda kumuwerera olwo bwanamaliriza okusoma amuwase.

Abayizi baategezezza nti baalabye kisusse kwekusalawo okuba ekiwandiiko nebakitwalira omu ku baadde baabwe naye eyakolaganye n’ekibiina ky’obwannakyewa ekimu.

Mukiwandiiko, baategezezza musomesa waabwe bwabadde abayisa era nga yabalabula okubakolako obulabe singa babaako kye boogera eri abakulu ku ssomero ssaako abazadde.

Amyuka omukulu w’essomero lya Bugujju C/U, Ronald Mwebe yagambye nti nabo bekanze okulaba nga musomesa wabwe atwalibwa ku poliisi kuba babadde tebawulira ngako ku bikolwa ebyo.

Yagambye nti olw’okuba Ssabbiiti abadde ayagala nnyo abayizi, okumulaba nabamu ku bawala kibadde tekibakanga ngako olw’okuba ebiseera ebisinga abeera nabo.

Racheal Kabahuma okuva mu ofiisi ekola kunsonga z’abaana e Wakiso yagambye nti bagenda kufuba okugoberera omusango guno okulaba ng’abayizi bafuna obwenkanya.

Kabahuma yagambye nti bagenda kulaba nga bakwatagana ne poliisi okulaba nga batambuza omusango guno n’obwegendereza ssaako n’okwekebejja obulamu bw’abayizi.

“Kyewunyisa okulaba ng’omusajja atuuse n’okuzzukuza abaana bano ate nga yabakabasanya. Tusuubira nti yandibadde ababuulira bubuulizi kituufu nakubalambika mu makubo matuufu.” Kabahuma bweyayongeddeko

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});