Abantu 2 abagambibwa okuba mu kibinja ky'ababbi b'ente e Luweero, bakwatiddwa poliisi.
Mu kikwekweto kino, ente bbiri ezigambibwa okuba enzibe zizuuliddwa okuli emmyufu n'enzirugavu erimu ebyeru, wamu n'emmotoka egambibwa okuba nti ababbi gye beeyambisizza okutambuza ente zino enzibe.
Emmotoka ezuuliddwa eri nnamba UAU 768 K era nga poliisi erudde ng'eginoonya ku bigambibwa nti bagyeyambisa okutambuza ente enzibe.
Kiddiridde okulajaana n'okwemulugunya kw'abatuuze e Luweero, Nakasongola ne Nakaseke ku bubbi bw'ebisolo naddala ente, okubadde ekukudde ejjembe.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Tweanamazima, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula ekituufu.