Bya James Magala
OMUKAGO ogutaba ebibiina by'obufuzi byonna mu ggwanga ogwa National Consultative Forum gulabudde Bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti okukomya omuze gw'okukunga abavubuka okwekalakaasa olw'eby'obufuzi, ekiteeka eggwanga mu katyabaga.
Okulabula kuno kukoleddwa omwogezi ow'omukago ogutaba ebibiina by'obufuzi byonna mu ggwanga Micheal Orach Osinde bw'abadde yeetabye ku mukolo ogw'okuggulawo ekitebe ky'ekibiina kya National Economic Empowerment (NEED) ekiggya ekisangibwa mu Munisipaali y'e Lubaga.
Osinde akukkulumidde bannabyabufuzi abakunga abavubuka okwekalakaasa olw'okwagala okuyisaawo ebigendererwa byabwe ng’ abantu ssekinoomu kyokka ng’ abavubuka bano bwe bakwatibwa tebafaayo kubalondoola mu makomera gye batwalibwa, olwo ffamire zaabwe ne zisigala nga zibonaabona ky'agamba nti kikosezza nnyo enkulaakulana y'eggwanga.
Omwogezi W'omukago Ogutaba Ebibiina By'obufuzi Mu Ggwanga Micheal Orach Osinde Ng'aliko Byayogera.
Wano era Osinde avumiridde n'omuze gwa bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya okwerwanyisa bokka na bokka n'abajjukiza nti enkyukakyuka gye baagala yeetaaga kukolera wamu.
Ono asiimye Joseph Kabuleta olw'okukwata omumuli ogw'okubunyisa enjiri ey'okulwanyisa obwavu mu Bannayuganda n'asaba bannabyabufuzi abalala okumulabirako, essira baliteeke ku kusala amagezi okumalawo ebizibu eby'enjawulo ebinyiga Bannayuganda okusinga okulwana entalo ezitabayamba.
Omukolo guno gwetabiddwako Bannabyabufuzi okuva mu bibiina by'obufuzi eby'enjawulo okuli; FDC, DP,JEEMA n'abalala.
Eno Pulezidenti wa NEED,Joseph Kabuleta gy’asinzidde n’agamba nti abakulembeze bateekwa okukolera awamu awatali kweyawulamu okukasa nga obuweereza butuuka ku Munnayuganda asembayo.
Agambye nti n'omuwendo gw'ababaka ba Palamenti gusaana okukendeezebwako kiyambeko n'okukendeeza ku nsimbi empitirivu ezisaasanyizibwa ku babaka bano.
Mu ngeri y'emu Kabuleta agambye nti ekiseera kituuse obuyinza buzzibwe wansi mu bantu, olwo buli bbendobendo lironde Gavana owaalyo olwo Bannayuganda mu bitundu eby'enjawulo basobole okwekolera ku bizibu byabwe, awatali kusooka kulinda gavumenti.