NDA bakutte abaddukanya obulwaliro nga tebalina buyigirize na layisinsi
Ekitongole ekirondoola omutindo gw'eddagala mu ggwanga ki NDA ne police bakoze ekikwekweto ku bantu abaddukanya obulwaliro nga tebalina buyigirize na layisinsi mwe bakwatidde abamu, okuggala obulwaliro n'okubowa eddagala eriwera. Abamu ku bano babakukunudde wansi wa butanda nga bekukumye. Ekikwekweto kikoleddwa mu district ye Mukono ne Kayunga.
NDA bakutte abaddukanya obulwaliro nga tebalina buyigirize na layisinsi