Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja n’abaakakiiko ka Uganda Land commission bakwasizza Cansala wa Makerere University ettaka eryabaweebwa Pulezidenti mu 1989. Ettaka lino lisangibwa mu disitulikiti y’e Kyankwanzi nga lyakuyamba yunivaasite okutumbula eby’obulunzi n’obulimi.