Eyadduse mu Bwafaaza akubye endiga ye embaga makeke

24th October 2023

Faaza Waiguru eyali yasindikibwa mu North ne South America, kigambibwa nti eyo gye yafunira ‘mwana munne’ ne bazaalirayo n’abaana babiri nga bakikola mu kyama.

Eyadduse mu Bwafaaza akubye endiga ye embaga makeke
NewVision Reporter
@NewVision
#Bufaaza #Mbaga #Makeke #Kenya #Faaza Edwin Gathang’i Waiguru
3.65K views

Kenya: Eyadduse mu Bwafaaza akubye embaga makeke

Abadde faaza wa Klezia Katolika e Kenya olubusuddewo n’akola embaga makeke ng’agamba nti Katonda ye yamulagidde.  Faaza Edwin Gathang’i Waiguru, ye yayanaamirizza ensi bwe yakoze embaga ng’awasa omu ku zibadde endiga ze, Margaret Wanjira Githui ku mukolo amawuuno ogwamenye n’ebitooke mu Kabuga k’e Ikinu Githunguri.

Faaza Waiguru, Eyawasizza.

Faaza Waiguru, Eyawasizza.

Faaza Waiguru eyali yasindikibwa mu North ne South America, kigambibwa nti eyo gye yafunira ‘mwana munne’ ne bazaalirayo n’abaana babiri nga bakikola mu kyama.

Kyokka bwe yatuuse okudda e Kenya yalangiridde nti mwetegefu okusuulawo Obufaaza ne yeegatta ku kibinja ky’enzikiriza ya ‘Charismatic’ abaamugasse ku mbaga eno ne bamutikkira mu butongole okutandika okukola nabo.

Bp. Patrick Mulau owa Kirinyaga Charismatic Church, (nayo ekolagana ennyo ne Roman Catholic Church ye yakulembeddemu omukolo guno n’ayaniriza Faaza Waiguru mu buweereza obupya.

Enjawulo ennene eriwo wakati w’enzikiriza zino zombi eri nti Eklezia Katolika yo tekkiriza Bafaaza kuwasa ate nga mu Charismatic Church yo bakkirizibwa. Bino we bijjidde ng’e Kenya waliwo Omusaserodooti omulala eyaakafiira mu loogi gye yali asuze n’omuwandiisi wa ofiisi ye okwesanyusaamu!

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.