ABOOLUGANDA lwa Paul Kato Lubwama 53, batandise okukuhhaana n’okutuuza enkiiko mu kyalo okusalawo ku by’enziika ye oluvannyuma lw’ekigo ky’e Nkozi okubategeeza mu butongole nti bafunye ebiragiro okuva e Lubaga obutamusomera Mmisa.
Kato waakuziikibwa ku Lwokusatu ku kiggya kya bajjajja be mu zooni ya Nkozi A mu muluka gw’e Buseese mu Kayabwe Town Council.
Omu ku booluganda lwa Kato Lubwama, ayitibwa Paul Mpanga yategeezezza Bukedde nti abakulira ekigo ky’e Nkozi ekitwala zooni mwe bagenda okuziika baabagambye nti baafunye ekiragiro okuva ewa Cansala Rev. Fr. Pius Male Ssentumbwe obutasomera mugenzi Mmisa kubanga talina bisaanyizo kuziikibwa mu engeri Enkatoliki.
Mpanga yagambye nti nga famire kibalumye nnyo ku kiggya kyabwe okuziikako omuntu gwe batasomedde Mmisa kyokka tebalina kyakukola n’agamba nti baasisinkanyemu nga famire eggulo ku Ssande ne bakkaanya nti bajja kugondera Eklezia ky’esazeewo.
Kyategeezeddwa nti olwaleero (Mmande) lwe basuubirwa okutandika okusima entaana era eggulo abaana b’omugenzi baagenzeeyo ne baleka ssente ezigenda okugula ebintu ebinaazimba nga seminti ne bbulooka.
Abooluganda era baagambye nti omugenzi yalaama kumuliraanya muganda we Wasswa eyamusooka okufa era we bagenda okusima entaana.
EBIZUUSE KU KITAAWE: YAWASA ABAKAZI 3 NG’OKUSOMA OBWAFAAZA KUGAANYE
Ssaalongo Matia Ssenjabya Lubwama, kitaawe wa Kato Lubwama yasooka kusoma Bufaaza wabula ne bamugoba olw’ensonga etaamanyika.
Ensonda mu ffamire ya Kato Lubwama zaategeezezza nti Ssaalongo Lubwama yayagala nnyo okubeera omuseserodoti. Baamutwala mu seminale y’e Bukalasa e Masaka gye yasomera ne Kalidinaali Emmanuel Wamala.
Kyokka baamugoba mu seminale ekintu ekyamuyisa obubi ennyo era wadde mu kusooka yali muweereza wa maanyi mu Klezia, yasalawo okukola ebimunyumira era we yafiira mu 2019 nga yawasa abakazi basatu be yazaalamu emigogo gy’abalongo gya mirundi esatu.
Maama wa Kato Lubwama yazaala ye (Kato), Wasswa (eyafa oba kiyite okubuuka) ne mwannyina Kato eyali ayitibwa Nanteza.
Omukyala owookubiri yazaala abaana basatu ate owookusatu n’azaala abaana mukaaga. Ssaalongo Lubwama yafa mu 2019 ng’alina emyaka 85.
Eky’okuwasa abakazi abangi kyamuleetera okukuubagana ne Klezia wadde nga ffamire ye ya ddiini nnyo. Okugeza ettaka okutudde ekigo ky’e Nkozi lyaweebwayo Dodovico Ssaabwe, eyali taata wa Kato Lubwama omuto.
Klezia yabawaamu ettaka eddala lya yiika 10 ku kyalo Nkozi B kwe baateeka ekiggya era eno Kato gy’agenda okuziikibwa ku Lwokusatu.
Paul Mpanga, muganda wa Kato Lubwama yeewuunyizza nnyo ekya muganda we okuzimba essabo awaka n’agamba nti yakoma okugenda e Mutundwe edda ng’afumbiza muwala we, kyokka teyalabayo ssabo.
“Kyambuuseeko faaza bwe yampeerezza obubaka ku ssimu ng’antegeeza nti n’awaka wano we tugenda okuziika tebagenda kusomerawo Mmisa. Ensonga gye bampadde y’ey’okuba nti omugenzi abadde alina essabo era ng’amanyiddwa nti yeeyita musamize,” Mpanga bwe yagambye.
Ensonda ku kyalo zaategeezezza nti omugenzi olumu yali ayagala kuzimba ssabo ku kiggya, kyokka abooluganda ne bamulemesa era baavaawo bubi.
W’afiiridde nga bateekateeka okuzimba ennyumba y’oku kiggya ennene. Kyokka nakyo kibaddemu okusika omuguwa kuba Kato Lubwama yayagala okukiwomamu omutwe, abamu ne bamutabukira nti ayagala kwezza ttaka lya kiggya.
Baali basimye omusingi gw’ennyumba ey’omulembe ennene, kyokka we byakoma era mu kiseera kino tewakyali abyogerako.
Abatuuze b’oku kyalo baagambye nti Kato Lubwama okusinga babadde bamuwulira buwulizi n’okumulaba ku ttivvi naye nga tebamumanyi. Ku kyalo abadde ajjako nga waliwo emikolo ng’okuziika oba okwabya ennyimbe