Eklezia ya Lutikko ey’essaza ly’e Lugazi ewuumye bw’ekubyeko Abakristu okuva mu bigo eby’enjawulo mu ssaza n’ebweru waalyo abazze okubeerawo ng’abajulizi ng’omusumba w’essaza lino awa Abadinkoni babiri ekkula ly’Obufaaza ate Abaseminaaliyo mukaaga ne basuumusibwa okufuuka Abadyankoni.
Bp. Christopher Kakooza y’akulembedde mmisa eno ng’ayambibwako omubeezi we, Msgr. Richard Kayongo ng’omusumba omuwummuze, Mathias Ssekamanya naye abaddewo ssaako baffaaza abalala abaweredde ddala.
Abatuuse ku kkula ly’obufaaza ye Mudyankoni Ronald Ishanga ng’ono azaalibwa mu kigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa ne munne Moses Okoth okuva mu kigo kya St. Wilbroad e Nagongera ng’ono ali wansi w’ekitongole ky’abaminsani aba Missionaries of St. Francis De Sales (MSFS).
Bbo abatuuse ku kkula ly’obudyankoni y’e Gilbert Lubwama, Andrew Ssebuufu, Alex Ssekanjakko, Micheal Ssekiziyivu, Philip Kimbowa Ssewajje ne Evarest Ssewajje. Omusumba Kakooza era aliko Abaseminaaliyo musanvu b’asuumusizza n’abawa emirimu egy’enjawulo omuli ogw’obusomi n’obuweereza.
Bp. Ssekamanya ng'awa omukisa kati eyafuuse Fr. Ishanga
Emmisa etandise na kusimba nnyiriri omubadde Baffaaaza ab’enjawulo nga baddiriddwa abagole ababadde ne bazadde baabwe nga bano be babanjudde ew’omusumba wakati mu mmisa ng’egenda mu maaso.
Omulombolombo obw’enjawulo obuyitibwamu mu kuwa obudyankoni n’obufaaza bugobereddwa kamu ku kamu omubadde n’abagole bano okweyala wansi ng’amatendo g’Abatuukirivu bwe gakowoolebwa. Bakira bakowoolebwa omu kw’omu ng’akulemberwaamu bazaddebe nga bamutwala bamukwasa Omusumba Kakooza wakati mu nduulu n’okusakaanya okuva mu Bakristu.
Abasumba ne baffaaza bonna bavuddeyo nga bwe basabira abagole ba ffaaza emikisa nga babakwata ku mitwe nga bbo bafukamidde nga ne kano kamu ku bulombolombo obuyitibwamu. Bakira abamaliriza be bambaza ebyambalo ne boolekera ebifo byabwe ebitegekeddwa waggulu ku kitukuvu. Bbo ba ffaaza okuli Fr. Ishanga ne Fr. Okoth bawadde abasumba okuli Ssekamanya ne Kakooza omukisa.
Mu kusooka ng’ayigiriza, Bp. Kakooza yasiimye abazadde ba bano abakkirizza okubawaayo baweereze Klezia ne Mukama Katonda waabwe n’alambika ku ngeri emikolo gye gibadde gigenda okutambula.
Ba ffaaza n'abadyankoni nga bagalamidde mu maaso ga Alutaali wakati mu kusaba n'okukowoola Abatuukirivu.
Ssaabakristu w’essaza ly’e Lugazi, Charles Kabanda asiimye abagole ne bazadde baabwe olw’okutuuka ku kkula lino n’agamba nti wadde buli muzadde yandiyadde okutuuka ku kino, bangi tebakisobola kukituukako nga lye ssanyu lye bafuna olw’abo ababa bakituseeko.
Cyril Bampa Mutabaazi ku lw’abazadde b’abagole, yeebazizza Omusumba Ssekamanya olw’omusingi gwe yatemera abagole bano.
Ate ku lw’abagole, Fr. Ishanga ategeezezza nti bbo buli ekibatuseeko bakira bakyewuunya bw’ewuunya engeri gye bakyusizza abaayingidde mu mmisa nga baseminaliyo okufuuka Abadyankoni sso nga nabo ababadde Abadyankoni bamalirizza nga kati ba Ffaaza abajjuvu.
Comments
No Comment