Abatuuze b'omu Kiteezi abaabuutikirwa Kasasiro ne bafiirwa abantu baabwe, beeraliikirivu olwa KCCA okukuba obupande ku ttaka lyabwe nga kuliko ebigambo ebibawera obutaddamu kulisaalimbirako. Kino kibaggye mu mbeera kubanga babadde tebannaliyirirwa nsimbi zaabwe!