TEHERAN, Lwamukaaga
OMUSAJJA eyasalawo okweggya mu banne abeere mu bulamu obubwe yekka afiiridde ku myaka 94 oluvannyuma lw’okunaaba omulundi gwe ogusoose mu myaka 60.
Amou Haji yagaana okukozesa ssabbuuni wadde amazzi okumala emyaka 60 ng’atya nti, biyinza okumulwaza.
Omusajja ono enzaalwa ya Iran mu bukiikaddyo bw’eggwanga eryo mu kitundu kya Fars abadde yeekweka abatuuze obutamukaka kunaaba.
Okusinziira ku mawulire ga Irana aga IRNA gaategeezezza nti, yagwa ku ndiri oluvannyuma lw’ennaku ntono nga yaakamala okunaaba.
Mu mboozi gye yakola mu 2014, yategeeza omukutu gw’amawulire ogwa Tehran Times mu 2014 nti, emmere esinga okumuwoomera ye nnyama ya namunnungu era nti, yali asula mu mpuku ku kyalo Dejgah.
Emyaka gy’amaze nga tanaaba olususu lwe lwabadde lufuuse lwa bikampa. Era abadde alya n’ebinyamanyama ebivunze oba ebitayidde n’amazzi amacaafu.
Abadde anyumirwa nnyo okunywa emmindi n’enjaga era ng’ebiseera ebisinga abeera anyooka.