OMUKAMA wa Tooro, Oyo Kabamba Iguru akuzizza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 28 ku mukolo ogw’ekitiibwa ogwasombodde abantu abangi.
Emikolo gy’amatikkira egimanyiddwa nga Empango gikuzibwa buli September 12, nga bajjukira olunaku lwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obukama bwa Tooro gye yatuulako ku myaka esatu gyokka.
Omumyuka wa Sipiika, Thomas Tayebwa ye yabadde omugenyi omukulu era nga ye yakiikiridde Gavumenti eya wakati.
Ebikumi n’ebikumi by’abantu ebyabadde binekedde mu makanzu ne busuuti byetabye ku mukolo ogwabadde ku lubiri lwe Karuzika E Fort Portal era nga kye kitebe ky’Obukama.
Tayebwa yeebazizza Oyo olw’okukubiriza abavubuka n’abantu bonna mu Tooro okulwanyisa obulwadde bwa siriimu, okukuuma obutonde bw’ensi n’asaba Katonda ayongere okumuwa obulamu obulungi.
Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri waasooseewo kasiki akaggazzaawo oluguudo akavujjiriddwa aba Pilsner Lager.