ABAKULEMBEZE ab’enjawulo mu ggwanga bakungubagidde Kkwiini Elizabeth II eyabikiddwa ku Lwokuna akawungeezi. Abadde amanyiddwa abantu bangi ababadde bamwenyumirizaamu ku ngeri gye yettanira emirembe, okwegatta n’enkulaakulana. Muno mulimu bapulezidenti, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo, bannabyabufuzi, bannaddiini, abasuubuzi, abayizi era baaweerezza obubaka obukungubaga.
Omumyuka wa Katikkiro wa Uganda era minisita w’ensonga za East African Community, Rebecca Alitwala Kadaga ategeezezza nti Kkwiini anajjukirwa ku ngeri gy’ayimiriddewo ku nsonga y’omukago gwa Common Wealth omwegattira amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza.
Kadaga yalaze nti emyaka egisoba mu 75 nga y’akulira omukago guno kyongedde nnyo okunnyikiza emirembe mu nsi. Yasaasidde olulyo olulangira n’asaba Katonda ayongere okubagumya.
Loodi Mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago; asaasidde olulyo olulangira n’emikwano bonna olw’okufa kwa Kkwiini. Ayongeddeko nti, arese eddibu ddene n’okukosebwa emitima gy’abantu. “Abadde yettanira nnyo emirembe okubukala mu nsi yonna n’okwegatta kw’amawanga. Ensi egenda kumusubwa era Allah agumye ffamire.”
Omukama wa Tooro Oyo Nyimba naye yaweerezza obubaka obusaasira olulyo olulangira n’abakulembeze bonna mu Bungereza okufiira abadde omuntu ow’enjawulo alabirwaako buli mukulembeze naddala mu kukuuma emirembe, okugatta ensi, n’okwettanira enkulaakulana.
Akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Mathias Mpuuga Nsamba yategeezezza nti, Kkwiini abadde kyakulabirako kinene ku bantu abalwanyisa ebikolwa eby’okunyigiriza abalala.
Yalaze nti Bungereza yettanidde nnyo okugatta amawanga gonna okugayamba okugasitula n’okulwanirira ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu. Yasaasidde olulyo olulangira e Bungereza.
Omubaka Medard Lubega Ssegona yategeezezza nti abakulembeze bangi basaana balabire ku ddembe ly’obuntu Kkwiini ly’abadde akulembeza okulaba nti libukana mu nsi yonna. Yategeezezza nti abadde kyakulabirako kinene eri amawanga gonna ku nkulaakulana n’okulwanirira eddembe mu nsi.
Omubaka Betty Nambooze Bakireke ow’ekibuga kya Mukono asinzidde mu America n’ategeeza nti, ensi yonna eri mu kiyongobero lwa kufa kwa Kkwiini. Yalaze nti abadde wanjawulo mu kulwanirira n’okunyweza ekitiibwa ky’obukulembeze n’emirembe.
Mmeeya wa Kampala Central Salim Uhuru yagambye nti Kkwiini abadde akwatiridde nnyo abakulembeze abali mu luse olumu ne Bungereza nga bakkaanya n’okukolera awamu. Asuubira nti Kabaka Charles III agenda kwongera okunnyikiza enkolagana eno n’okulwanirira bannansi.
Ssentebe wa LC 1 atwala Kasaato zzooni, Sande Nkoyooyo yagambye nti, Kkwiini abadde wanjawulo mu bukulembeze bwe era abadde tayagala kulaba muntu anyigiriza mulala. Nti nga tayagala ntalo n’okutyoboola abakyala n’abaana. Yasabye abantu bonna bamulabireko ensi yonna