ABASOMESA abagambibwa okusangibwa n'ebigezo ebyakamalirizo ebya PLE ebituulibwa abayizi ba P7 basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

Abasomesa Abasomeddwa Omusango Gw'okusangibwa N'ebigezo Bya Ple Nga Basimbiddwa Mu Kaguli Ka Kkooti
Dickson Tugeineyo, Deogracious Opio , Ismail Madete, William Olwa, Bruno Lyazi ne Nathan Ssebulonde amanyiddwa nga Jungle be basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ya City Hall Nicholas Aisu olwaleero ku Lwokuna nga 8, October 2026.
Omuwaabi wa gavumenti Mercy Yamangusho Khaidara yategeezezza kkooti nti abavunaanibwa n'abalala abatannakwatibwa wakati wa September ne October 2026 baasangibwa n'ebigezo nga bagamba nti bya PLE w’omwaka guno agenda okukolebwa.

Abamu Ku Bawawaabirwa Nga Bava Mu Kaguli Ka Kkooti.
Yamangusho yagambye nti okunoonyereza kukyakolebwa ku Tugeineyo ne Ssebulonde yadde nga bakkirizza emisango ate okunoonyereza ku bavunaanibwa abalala kwo kwawedde.
Munnamateeka wa Bruno Lyazi omu ku bavunaanibwa Amos Kuuku yategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwe kwawedde era n’asaba omulamuzi akkirize omuntu we yeeyimirirwe
Omulamuzi Aisu omusango yagwongeddeyo okutuuka nga October 19, 2026 abavunaanibwa n’abasindika ku limanda