Abasibe 3 batolose mu kkomera

POLIISI e Mityana n’ekitongole ky’amakomera bayigga abasibe basatu abaatolose mu kkomera.

Abasibe 3 batolose mu kkomera
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI e Mityana n’ekitongole ky’amakomera bayigga abasibe basatu abaatolose mu kkomera.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Wamala, Rachael Kawala yategeezezza nti abasibe abaatolose ye: Joseph Hakiza 27, ow’e Nyarubuye mu muluka gw’e Katobo mu disituliki y’e Kisoro ng’ono abadde awerennemba na misango gya kwekakaatika ku bbujje n’alikabawaza.

Omulala ye; Videon Nasasira 37, nga mutuuze w’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda.

Ono abadde awerennemba na misango gya kubbisa lyanyi ne Francis Mfitumukiza 24, omutuuze w’e Rubange, mu ggombolola y’e Murora mu disitulikiti y’e Kisoro, ono ng’abadde awerennemba na misango gya kutta muntu.

Poliisi yagguddewo ffayiro nnamba CRB: 1197, era n’eteekawo nnamba z’amasimu eri oyo yenna abeera abalabyeko gy’asobola okukuba n’abategeeza.

Kuliko nnamba 0800300118, 0706034158 ne 0757719965.