Basanyukidde enteekateeka ey’okuggula amasomero

Sep 08, 2020

BANNANNYINI masomero basanyukidde ekirowoozo kya Gavumenti okugaggulawo omwezi guno nga batandika n’ebibiina ebikola ebibuuzo eby’akamalirizo.

Basanyukidde enteekateeka ey’okuggula amasomero

NewVision Reporter
Journalist @NewVision

Wabula bangi, naddala abali mu masomero ag’obwannannyini, basaba Gavumenti ebeeko engeri gy’egawagiramu okusobola okutuukiriza obukwakkulizo bwonna obunassibwawo okutangira Corona okukwata abayizi.

Okunoonyereza okwakoleddwa aba M&E BESO foundation, nga bakulemberwa John William Kasamba, kuzudde nti amasomero mangi tegalina busobozi kuteeka mu nkola biragiro bya minisitule y’Ebyobulamu ne wankubadde ng’omutima ogwagala okusomesa bagulina.

Abakulira amasomero bategeezezza nti wadde tebannaba kufuna ddoboozi lya Gavumenti mu butongole ku nsonga y’okuddamu okuggulawo amasomero, kye baawuliddeko kyabasanyusizza wadde nga bangi bali mu kanaayokya ani yennyini kubanga beetaaga okwetegeka okw’enjawulo.

Ebbaluwa eyasaasaanidde ku mikutu gya yintanenti, yalaze nga minisita w’Ebyenjigiriza n’Emizannyo, Janet Museveni bwe yawandiikidde aba Minisitule y’Ebyensimbi ng’abajjukiza nti okusinziira ku lukiiko lwe baatuulamu nga September 1, mu State House e Ntebe, bakkaanya okutandika okuggulawo amasomero nga September 20.

Wabula yategeezezza nti baabadde bamutegeezezza nti ssente Gavumenti z’eweereza okuddukanya amasomero (Captation Grant) ez’olusoma olwokusatu zaabadde tezinnatuuka ku masomero, n’asaba minisitule y’Ebyensimbi ekole ku nsonga eno basobole okutuukirirza enteekateeka eno.

Ensonda mu minisitule zaategeezezza nti Gavuementi yasazeewo okutandika okuggulawo amasomero mu mitendera nga batandika ne P7, S4 ne S6.

OKUNOONYEREZA BYE KUZUDDE

Okunoonyereza okwakoleddwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo kwalaze nti amasomero mangi gaakoseddwa nnyo embeera ya Corona era nga weetaaga okubaawo ekikolebwa mu bwangu okugadduukirira gasobole okukola omulimu omutuufu.

Wakiso ne Kampala bye bitundu ebisingamu amasomero agobwannannyini, kyokka ebitundu 91 ku 100 galaga nti gatubidde mu mabanja ga bbanka.

Okutwalira awamu amasomero agali mu bibuga gatambulira ku mabanja olw’okuvuganya okw’amaanyi okusinziira ku kunoonyereza, ate agali mu byalo geewola kitono nnyo.

Okutangira obulwadde bangi basemba bateekewo ebidomola ne sabbuuni okunaaba mu ngalo nga bano baweza ebitundu 78 ku 100 ate abasemba okukozesa ‘sanitizers’ bali 15 ku 100.

Abasobola okugula obuuma obukebera ebbugumu ly’omubiri bali ebitundu 9 ku 100 bokka. Akuuma kano kagula emitwalo 30 eza Uganda. Ku masomero agalina amabanja ga bbanka ebitundu 51 ku 100 ge galemereddwa okusasula olw’embeera ya Corona.

ABAMASOMERO BOOGEDDE

Ssentebe w’ekibiina kya Proprietors of Private Educational Institutions Association akulira amasomero ga Janan Schools, Mike Kironde, yategeezezza Bukedde nti baagala okuggulawo amasomero naye balina okubaako bye bakola mu bwangu okussaawo embeera eteteeke bayizi mu bulabe.

“Ekisinga obukulu amaanyi tugatadde ku mbeera ey’okuyambako amasomero okulaba nga gafuna ebikozesebwa kubanga okunoonyereza kulaga nti bangi tebalina busobozi kugula buuma obupima ebbugumu ly’omubiri,” Kironde bwe yannyonnyodde.

Pulezidenti Museveni bwe yali ayogera eri eggwanga mu July, yalangirira nti Gavumenti etaddewo obuwumbi 20 baziteeka mu SACCO y’abasomesa zisobole okubayambako okudda engulu.

Kironde yagambye nti ssente zino za basomesa era be baalina okuzeewola okuzikozesa sso si bannannyini masomero. John Fred Kazibwe, akulira Mengo SS, yategeezezza nti ensonga eno tasobola kugyogerako kubanga tebannaba kufuna kiwandiiko kyonna okuva mu minisitule.

Hajji Jamir Buwembo owa Kakungulu Memorial Kibuli, yagambye nti beetegefu okuggulawo basomese kyokka bakyalinda ddoboozi ettongole okuva mu Gavumenti.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});