Ab'amasomero abaggaddewo balaga bye bayitamu
NewVision Reporter
Journalist @NewVision

Bya VIVIEN NAKITENDE                                                                                                EKIRAGIRO kya Gavumenti ku baana ba nnasale okusigala awaka okutuusa nga Corona agenze n'okuggulawo amalala omusoolesoole, kituusizza bannannyini masomero ag'enjawulo okukyusa agabadde amasomero ne bagassaamu bizinensi endala.

Eyali Scarlet Junior School e Kabowa baagifuula nju za bapangisa.

Ab'amasomero abasinze okusanga obuzibu beebo ababadde bapangisa ebizimbe mwe basomeseza, abalina abayizi abatono n'agaali gaakatandika bizinensi eno. Abamu baasazeewo okutunda amasomero gaabwe banoonye ebirala eby'okukola ebivaamu ssente kubanga balaba ebbanga lisusse ng'amasomero gali ku muggalo ate bagatta musoolesoole.

Asadu Kirabira, akulira amasomero g'obwannannyini gonna okuva ku nnasale okutuuka ku yunivasite mu disitulikiti y'e Kampala era akulira okunoonyereza mu kibiina kino mu ggwanga lyonna ekya; National Private Educational Institutions Association agamba; Omwaka oguwedde 2020 gwagenda okuggwaako, ng'amasomero agasoba mu 300 ge gaggaddewo mu Kampala ne disitulikiti eziriraanyeewo.

Nalubega

Ate amasomero agasoba mu 1,000 ge gaggaddewo okwetooloola eggwanga lyonna ate ng'okusinziira ku mawulire ge tukyafuna amasomero mangi ddala agaggalawo. Abantu baatandika okutunda amasomero gaabwe ku sipiidi eya maanyi banoonye emirimu emirala egy'okukola, nga kumpi ku buli mukutu gwa WhatsApp ogw'abasomesa osangako abataddeyo ebifaananyi, mu gano mulimu n'agali ku ddaala ly'ensi yonna (International schools).

Abasomesa ne bannannyini masomero obuzibu bwe basanze bungi era basabye gavumenti, ebawulirize egonzeemu, abayizi bonna bakkirizibwe okuddamu okusoma.

ABAGGADDEWO KYE BOOGERA                                                                                                                                 1 Hafla Lubega, nannyini ssomero lya Tinker bell Nursery School e Mutundwe, essomero yaliggyeewo n'ateekamu supermarket agamba; bwe nnalaba ng'ebbanga ligenderera ate nga tewali ssuubi masomero kuddamu mangu, nnatandika okufuna ekirowoozo kya bizinensi endala Bagenze okugamba nti nnasale baziggyewo, nga nze nnaakamala okukyusa nga mu kifo ky'essomero ntaddewo Supermarket. Embeera gye tubadde tuyitamu si nnungi era nkimanyi bangi bakyusizza ne bava mu mulimu gw'okusomesa olw'embeera enogye tutamanyi ddi lw'eriggwaawo.

Awaabadde Tinkerbell Nursery School baataddewo supamaketi.

2:Zaituni Namwanje; Nnannyini ssomero lya Scarlet Junior School e Kabowa; ebizimbe omubadde essomero lyange mbadde mpangisa bipangise, bwe twagenda mu muggalo nnali nsasuddeko landiroodi emyezi mu maaso. Ebbanga lye nnasasula lwaggwaako, landiloodi n'ampaamu obudde nga tulowooza embeera yali ejja kutereera mangu.

Yagenda okulaba teri kigenda mu maaso ate nga nange sirina we nzigya ssente kumusasula, kwe kusalawo ansibireko ebyange. Ebintu nabiguza ab'amasomero agaliraanyeewo kuba nnali sirina waakubitereka. Bwe nnawulira ku ssente za gavumenti ze yagamba okutuwa tweddaabulule ne nfuna essuubi nti osanga naayambibwa kyokka n'okutuusa leero tetulabanga ku ssente ezo. Tusaba gavumenti eveeyo etuyambeko tuddemu okusomesa abaana b'eggwanga.

Mulindwa

3: Joseph Kitatta; Akulira essomero lya Revelation Junior School e Kabowa; bwe baasooka okuta abayizi b'ebibiina by'akamalirizo, nnali nnina abayizi batono nnyo nga tebasobola kuyimirizaawo ssomero ddamba. Nasalawo okubagabira amasomero amalala nninde okuddamu kwa bonna.Kyambuuseeko ate bwe baagambye nti bagenda kusooka kukkiriza ba P6 bokka mu pulayimale okuddamu okusoma. Wetwawummulira omwaka oguwedde nga nnina abayizi 19 mu P6.

Gavumenti bwe yategeezezza nti egenda kukkiriza bayizi ba P6 okusooka okuddamu okusoma. Nakizudde ng'abayizi 9 baatwalibwa ne babawandiisa mu masomero ga gavumenti nga bazadde baabwe bagamba tebalina ssente za kunsasula ate nabo 10 be mbala nti be basigaddewo, nabo sinnakakasa nti bonna bakomawo.

Kati ddala essomero lisobola litya okuyimirirawo ku baana e 10 bokka ate nga ne nnasale zaawereddwa? Ebintu byongedde okunkaluubirira era okuddamu kw'essomero lyange kuli mu lusuubo kuba ndaba embeera yonna ensindiikiriza kuvaawo. Abasomesa abamu nabo baagenda dda mu byabwe eby'okusomesa si bye baliko.

4:Grace Nalubega nnaalongo; nnannyini masomero ga His Grace Nursery and Day Care School e Kitebi ne Rising Grace Nursery and Day Care Center Kyengera; njolekedde okuggalawo amasomero gange kuba gonna ga nnasale ate zaggaddwa. Ebizimbe mbadde mpangisa bipangise era mbadde n'essuubi nti abayizi bonna bagenda kuteebwa basome. Kati njolekedde kuggalawo.

Tusaba gavumenti etulowoozeeko nnasale nazo ziteebwe. 5Milly Kawenja Nnaalongo, akulira amasomero g'obwannannyini mu munisipaali y'e Makindye agamba; "Ebbanga lye tumaze nga tetunnaggulawo ddene, abasinga tebalina ssente zisasula balandiroodi ne basalawo bagezeeko bizinensi endala.

‘2020 AGGWAAKO MU JULY'                                                                                        Hajji Ismail Mulindwa, ddayirekita w'ebyenjigiriza ebisookerwako ne ssiniya; Tetulina ttaamu era tetwagala na kukyogera nti ttaamu bweti oba bw'eti, obwongo bwaffe bwonna tubutadde ku kulaba nti abayizi basoma ekyo kye bataasoma omwaka oguwedde. Ffe tugamba nti omwaka 2020 guggwaako mu July w'omwaka guno, kitegeeza nti byonna ebyali birina okusomesebwa mu mwaka gwa 2020, birina okuba nga bisomeddwa ne biggwaayo mu July.

"Kye nnyinza okugamba kiri nti, eno ye ttaamu esembayo ey'omwaka 2020, amaanyi gaffe tugatadde ku kulaba nti omwana afuna byonna mu bujjuvu mu kiseera kino. 

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});