KING Saha asiiba agogola maloboozi nga yeetegekera Olwokutaano okuli ekivvulu kye ku Hotel Africana.
Akunze abamuwagira okukeera bawulire ennyonza bw’ekooka. Agamba nti tagenda kubeera yekka kuba abayimbi abalala bamuwerekeddeko okuli; B2C, Nubian Li, Kabako, Spice Diana, Levixone, Big Eye n’abalala.
Rema Namakula ng’ayita mu mukwano gwe Evelyn Namulondo, yaguze emmeeza asobole okuwagira King Saha