King Saha yeezoobye ne poliisi mu kivvulu e Makindye

OMUYIMBI King Saha yeezoobye ne poliisi mu kivvulu kya Easter ekyabadde ku Calenda e Makindye.

King Saha yeezoobye ne poliisi mu kivvulu e Makindye
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasalabecca #King Saha

OMUYIMBI King Saha yeezoobye ne poliisi mu kivvulu kya Easter ekyabadde ku Calenda e Makindye.

Saha, y’omu ku bayimbi abaalangibwa okuyimba mu kifo ekyo ku Ssande era yalinnye ku siteegi ku ssaawa 3:30 ez’ekiro wakati mu nduulu okuva mu badigize. 

Yakubye abadigize omuziki n’abaabadde mu butebe ne basituka nga banyumiddwa. 

Yatandise okuyimba obuyimba obusuuta Pulinsipo Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’obwa ‘situlago’ era poliisi n’amagye ne bamusalako nga bwe bamulagira okukoma okuyimba ne baggyako n’ebyuma ng’eno abadigize bwe basaakaanya. 

Gye byakkidde, nga bamulese n’akuba ennyimba ze endala 3 n’ava ku siteegi.

Login to begin your journey to our premium content