EMBOOKO z’abawala ezaggulawo 2023, leero ze tukuleetedde olondeko eyasinze okukulabikira obulungi.
Mariam Mulungi,Omu ku bali mu Lwokaano.
Embooko zino zaafulumira ku muko gwa Ssanyu ogufuluma okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano mu katabo ka Bukedde.
Kendra Bbosa
Omuwala afulumidde ku muko guno abeera n’omukisa okuwangula empaka zino era n’abuukawo ne kavvu eyateekebwawo olupapula lwa Bukedde mu ngeri y’okuddiza abasomi be.
Ebifaananyi by’abawala abafulumira ku muko gwa Ssanyu biteekebwa ku peegi za facebook eya Bukedde Olupapula ne Bukedde ttivvi.
Oprah Madrine Nalwoga
Okulonda, ogenda ku peegi zino n’olonda ennambay’omuwala akusingidde okwaka n’omulonda. Omuwala asinga okufuna obululu obungi y’aba awangudde era y’aweebwa ssente zino nga zimukwasibwa ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde.
Omuwala yenna asobola okufulumira ku muko guno kubanga okufulumirako kwa bwereere.