Amawulire

Enteekateeka z’okuziika Hajji Katimbo owa Kikuubo

PULOGULAAMU y’okuziika ssentebe w’abasuubuzi mu Kikuubo, Hajji Mohammed Katimbo efulumye. Omulambo gusuubirwa okutuuka leero ku makya (Lwakubiri), gutwalibwe mu maka ge e Kyungu okumpi ne tawuni y’e Mukono gye yalaama okuziikibwa.

Hajji Katimbo nga yeetegereza ebimu ku byapa bye
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

PULOGULAAMU y’okuziika ssentebe w’abasuubuzi mu Kikuubo, Hajji Mohammed Katimbo efulumye. Omulambo gusuubirwa okutuuka leero ku makya (Lwakubiri), gutwalibwe mu maka ge e Kyungu okumpi ne tawuni y’e Mukono gye yalaama okuziikibwa.
Ffamire yateeseteese dda engeri gye bagenda okumuziika mu kitiibwa ng’eyambibwako abasuubuzi naddala bagagga banne mu Kikuubo gy’abadde akulembera. Omwogezi w’abasuubuzi ku lukiiko olufuga abasuubuzi, Mohammed Muyomba yategeezezza nti, Hajji Katimbo bagenda kumuwerekera mu kitiibwa ng’abadde ssentebe waabwe era omusajja abadde omukozi alabirwako abasuubuzi abato.
Yategeezezza nti Katimbo abadde amanyiddwa abasuubuzi bonna okutandikira ku balejjesa ebyamaguzi mu luguudo n’ababitundira ku mbalaza okutuuka ku bagagga abanene nga Wilson Muzzanganda. Muyomba yagambye nti enkola eriwo, omusuubuzi ayagala okuwa amabugo y’agenda mu ofiisi awatali kukakibwa kubanga Katimbo abadde ssentebe eyeesobola mu byonna ate alina emikwano egisobola okukola ku bintu byonna ebyetaagisa.
Omwogezi wa KACITA, Issa Ssekitto agambye nti Katimbo abalekedde eddibu ddene mu bukulembeze bwabwe mu Kampala kubanga y’abadde atwala ekitundu ekisingamu bammemba ba KACITA ate ng’awabula nnyo n’ensonga ng’azikwata kisajjakikulu.
ABATUUZE E KYUNGU
BALI MU KIYONGOBERO
Bukedde yatuuseeko mu maka g’omugenzi Hajji Katimbo gye yasanze abeemikwano n’abooluganda nga banakuwavu wakati mu kulindirira omulambo gwe ogusuubirwa okutuuka mu kiro okuva e Turkey gye yafiiridde.
Abatuuze ababeera ku kyalo Kyungu mu munisipaali y’e Mukono gy’abadde abeera, batendererezza emirimu omugenzi gy’alese akoledde ekyalo kyabwe naddala bw’atumbudde ebyenjigiriza n’eddiini ng’azimba amasomero n’emizikiti.
James Boogere, omu ku batuuze yategeezeeza ng’omugenzi bw’ayimiridde awamu n’abantu naddala abavubuka, bw’abayambye okweggyamu obwassemugayaavu ng’abawa emirimu awaka ne mu ffaamu ze, n’okubakubirizanga okwagala ennyo okukola nabo bafune ensimbi nga ye.
Tolofayina Mbabazi ng’ono ye muwandiisi w’ekyalo kino yategeezezza ng’omugenzi bw’akoze ekinene ennyo okulwanyisa obumenyi bw’amateeka naddala obubbi obwali bususse mu kitundu kyabwe era nga w’afiiridde, obubbi bubadde bukendeeredde ddala.
Ssentebe w’ekyalo kino Richard Zziwa yagambye nti omugenzi abadde mpagi luwaga n’amusiima olw’omukululo n’ettoffaali by’alese. Omugenzi yafudde ku Lwokutaano olweggulo mu ddwaaliro ly’ekikungu e Turkey gye yatwalibwa okumukebera n’okumujjanjaba obulwadde bwa sukaali obumaze ebbanga nga bumuluma.
Ng’obulwadde tebunnamugonza, yasooka mu kkooti ku musango gw’ettaka wiiki ssatu eziyise ne bamutegeeza addeyo ku Lwokuna nga February 9 0mwaka guno mu kkooti e Makindye.

Tags: