EbiwalirizzaGashumba okwetonderaKatikkiro Mayiga

8th October 2024

FRANK Gashumba agenze ewa Katikkiro mu Bulange e Mmengo n’amwetondera olw’ebbanga ly’amaze ng’amuvuma n’okumuvvoola.Gashumba yabukeerezza nkokola ku Mmande n’ayolekera e Bulange gye yasanze Katikkiro ng’amulinze.

Katikkiro Mayiga ne Gashumba nga bakwataganye mu ngalo. Ku ddyo ye Hajji Juma Witonze omu ku baawerekedde Gashumba ate ku kkono ye Ddungu Muweesi.
NewVision Reporter
@NewVision
201 views

FRANK Gashumba agenze ewa Katikkiro mu Bulange e Mmengo n’amwetondera olw’ebbanga ly’amaze ng’amuvuma n’okumuvvoola.
Gashumba yabukeerezza nkokola ku Mmande n’ayolekera e Bulange gye yasanze Katikkiro ng’amulinze.
Nga tannagenda Mmengo, yasooka kuwandiikira Katikkiro Charles Peter Mayiga ebbaluwa nga September 24, 2024 ng’amusaba okumusisinkana n’okumwetondera kwe kumuwa olwa Mmande nga October 7, 2024, era e Bulange yatuuseeyo ku ssaawa 5:00 ez’oku makya.
Baasoose kwevumba kafubo akaakulungudde eddakiika eziwera, oluvannyuma ne boogerako eri abaamawulire.
Mayiga yakkirizza okwetonda kwa Gashumba ng’agamba nti bamaze ebbanga nga bamanyiganye ate nga Munnabuddu munne. Yamugambye nti mu by’akola akomye okuvuma abantu wabula abawe bwino y’ajja okumweyimirira.
Mayiga yamuwadde omukisa okwanja ensonga eyabadde emuleese okumusisinkana era kino Gashumba kye yakoze n’ategeeza ng’emyaka gy’atuuseemu gyamuleetedde okwekuba mu kifuba n’atunuulira ebigambo bye yamwogerera nga byali tebisaana kyokka ate n’ayagala okutuukiriza okusaba okwakolebwa bakadde be mu ddiini okuli omugenzi Ssaabasumba Kizito Lwanga eyali ow’essaza ekkulu erya Kampala, Bp. Serverous Jjumba ow’essaza ly’e Masaka wamu ne munnamateeka Jude Mbabaali.
Katikkiro Mayiga yabadde ne baminisita okuli Noah Kiyimba ow’abagenyi ne kabineeti ssaako ne Israel Kazibwe owaamawulire. Ate ye Gashumba yayise ne mikwano gye okuli Hajji Juma Witonze Kisekka ng’ono y’akwanaganya emirimu gya PLU mu kitundu ky’e Mpigi ne Ddungu Muweesi.
Gashumba yeebazizza Mayiga olw’okulwanirira Kabaka n’Obuganda n’okukubiriza abantu okulima emmwaanyi n’amusaba addemu amukkirize amuleetere ku Bavandimwe bamukyalireko.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.