Abakazi lwe abatulugunya abasajja mu maka ne bafa kisiiri nga teri awolereza

Florence Namulindwa, owaabakyala ku kyalo Nabisasiro e Busega mu munisipaali y’e Lubaga agamba nti n’abasajja abatulugunyizibwa gye bali naye bafa kisiiri.

Abakazi lwe abatulugunya abasajja mu maka ne bafa kisiiri nga teri awolereza
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Maka #Basajja #Kutulugunya #Bakazi #Ssenga

EMIRUNDI mingi, okutulugunyizibwa mu maka kulabika nnyo ng’abakyala be batulugunyizibwa abasajja era ebibiina ebirwanirira eddembe lya bakazi bingi.

Kyokka Florence Namulindwa, owaabakyala ku kyalo Nabisasiro e Busega mu munisipaali y’e Lubaga agamba nti n’abasajja abatulugunyizibwa gye bali naye bafa kisiiri.

Agamba nti eriyo abaami abatudde ku maggwa naye olw’okutya okuswala baguma nga n’awaka tebabawa mmere, abamu bakubwa bakyala baabwe.

“Eriyo omusajja eyatalantuka n’agwa nga tuli mu lukiiko. Bwe yatereera ne njogerako naye nga mmubuuza obuzibu we buvudde.  

Yang'amba nti bamulyako emmere awaka, bwe namugamba njogerako ne mukyala n’agaana nti njakuba nnyongedde kusajjula mbeera,” Namulindwa bw’anyumya. 

Abasajja yabawadde amagezi okweggyamu embeera y’okufa ekisiiri nga basirikira ebibanyiga n’abawabula nti bwe wabaawo ebizibu, boogere n’abakulembeze baabwe oba bannaddiini okulaba ng’embeera zigonjoolwa.

 Namulindwa, yayogedde ne ku mbeera endala ezitera okutawaanya abafumbo mu kitundu kye; 

Ttamiiro: Agamba nti ettamiiro lisusse mu kitundu kyabwe era livuddeko nnyo obutabanguko mu maka kuba abasajja abamu banywa omwenge ne batamiira ne beerabira obuvunaanyizbwa mu maka.

“Omwami bw’aba nga munywi wa mwenge ekisusse, tayinza butakuba mukyala kuba ate bw’akomawo eka gy’ataalese ssente naye ng’ayagala okulya ey’omukyala gye yayiiyizza ekiddirira kulwanagana,” Namulindwa bwe yagambye.

Ensonga z’ekisenge tezikyatambula bulungi: Agamba nti olw’okuba abaami tebakyatuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bw’awaka, n’abakyala tebakyayagala kukiika mu kitanda ate ng’ensonga z’ekisenge bwe muzigayaalirira, n’obutabanguko awaka bubaawo.  

Awabudde abasajja nti nga tebannapeeka bakyala baabwe kaboozi, basooke bakakase nga batereeza embeera za waka kuba teri mukazi ayagala kukola mikolo gya kisenge nga muyala. 

Entondo: Abasajja abamu balina entondo naddala abo abalina abakyala ababasinza ssente. Abamu beekwasa nti abakyala babayisaamu amaaso naye ng’obuzibu, bo be balina entondo. “Olw’okuba omusajja omanyi nti nkusinza akasente ne bwe naayogera nga sikuvuma era gwe olowooza nkuvuma naye ng’oluusi si bwe kiba,” Namulindwa bw’agamba.

 Abakyala abafumbo yabakubirizza okutegeera abaami baabwe nga batandikira ku nfuna yaabwe, obunafu bwabwe kuba bw’obimanya wabaawo bye musobola okwewala ebibatabangula.

Empuliziganya: Abafumbo era yabawabudde okukulembeza okuyambagana n’empuliziganya kuba inga bibaawo, ebibi bingi bye basobola okwewala.