"Saagala situleesi kubanga ekaddiya"

"Njagala nnyo okuwuga okwemalako situleesi"

"Saagala situleesi kubanga ekaddiya"
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Kukaddiwa #Situleesi #Saagala #Ssenga #Rashidah Wantanti

Gyebaleko nnyabo, eno mpozi ye Iganga high court?
Yee nnyabo oyagala tukuyambe tutya.

Nsaba kundagirirako mulamuzi wa kkooti eno w'atuula njagala kwogeramu naye
Eehh oyagala kulaba mulamuzi, wakoze naye “appointment” kubanga omuntu wa bulijjo okumutuukako olina okusooka okukola “appointment” naye okusobola okumulaba.

Rashida Ng'anyumidde Mu Habaaya.

Rashida Ng'anyumidde Mu Habaaya.

Naye nze siri muntu wa bulijjo ndi wa mawulire. Nkulaba ng’omuwala omuto ennyo okukola omulimu wano ku kkooti wasoma kyenkanawa?

Kituufu ndi muwala muto nze muggalanda ewaffe ssaawa eno nsoma ddiguli mu kubala ebitabo era nzikiriza mukama nga ankwatiddeko ajja kunsobozesa okugimaliriza

Ooohh wamma ky’ekyejo ekyo obwedda kye ndaba oli muggalanda kirabika ewammwe muli bayivu abakadde beebale kufuba kubaweerera. Ebbanga lyomazze ku
mulimu guno kusoomoozebwa ki kw waakafuna ye omalako otya?
Okusoomoozebwa tekubula ku mirimu naye Mukama akyansaasidde sinnaba kufuna kusoomoozebwa kwonna.

Okikola otya okubeera omuto ebbanga lyonna bawala banno tuwe ku magezi naffe tufaananeko nga ggwe.
Sirina bingi byenkola wabula newala okweteekako situleesi kubanga nakitegeera nti yeesingira ddala okukaddiya.

Kirabika ofaayo nnyo ku kusoma.
Ffenna ewaffe tuli bayivu y’ensonga lwaki nkola butaweera obutaswaza bakadde bange kubanga batubeereddewo nnyo nga tukula.

Sooka ompe ku mannya go.
Nze Rashidah Wantanti erirya ssente nze Nana Brown Christabell mpangaalira wano mu kibuga Iganga.

Ng’ogyeko okujja wano ku kkooti n’okola ebiseera byo eby’eddembe obimalako otya?
Bwemba siri wano njagala nnyo okuwuga, okuwuliriza muziki n’okutambula engendo empanvu bimpummuzza ebirowoozo.

Abawala abato abalabika nga gwe batera okwewaggula ne bava mu maka ga bakadde baabwe ne beeyombekera mu buzigo ggwe okikola otya?
Waa siyinza kweyombekera nkyali mu maka ga bakadde bange kubanga eby’ensimbi nga bw'obimanyi sinnafuna ssente zimala kwebeezaawo.