ABABAKA ba palamenti aba DP beesomye okulwana okulaba ng’ekibiina kyabwe
tekisaanawo wakati mu kusika omuguwa n’ekibiina kya NRM ekigambibwa okutta nabo
omukago. Mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku palamenti, ababaka
okubadde Richard Lumu (Mityana South), Micheal Lulume Bayiga (Buikwe South), Fred Kayondo (Mukono South) ne Richard Ssebamala (Bukoto Central) baategeezezza
nti ssenkaggale w’ekibiina kyabwe, Norbert Mao yeegatta ku NRM ng’omuntu so si ng’ekibiina era tebagenda kukkiriza kukolagana na kibiina ekiri mu buyinza kubanga
tebaasooka kwebuuzibwako. Okukola olukung’aana luno kiddiridde Pulezidenti Museveni okwaniriza Mao mu butongole mu bubaka bwe obwasomebwa ku mukolo ogwategekebwa e Gulu ku Lwomukaaga.
Lumu yagambye nti newankubadde yayaniriziddwa ng’omuntu era minisita wa ssemateeka, tasaanye kuddamu kweyita pulezidenti wa kibiina kubanga kikontana ne ssemateeka afuga eggwanga abakugira okubeera mu bibiina ebibiri. Yategeezezza nti, baakutalaaga ebitundu by’eggwanga okutegeeza Banna DP nti ekibiina kyabwe
kikyaliwo era nga kyetengeredde.
Okusinziira ku Kayondo, ekikolwakya Mao okwegatta ku NRM kyatyobodde ebyafaayo bya disitulikiti ya Gulu omwava abasajja nga Tito Okello Lutwa, Apollo Milton Obote n’abalala abaalwanirira ekifo ky’obukulembeze bw’eggwanga.