Kikankane ye Kyampiyoni wa Bwera Bistro SMC Challenge Rally

Apr 14, 2021

Bya GERALD KIKULWEBwera Bistro SMC Challenge Rally Duncan Mubiru 0:55:54:17JAS Mangat 0:56:18:52Hassan Alwi 0:57:42:69Abdu Kateete 0:59:52:41Omar Mayanja 1:01:34:23 EKIBIINA ekiddukanya omuzannyo gw’emmotoka z’empaka mu Ggwanga (FMU) kyekokkodde ekitongole kya ‘Intergrated Security System’(ISS) ekyabadde kivunaanyizibwa ku byuma ebirondoola sipiidi baddereeva kwe bavugidde e Ssembabule okulemererwa ate ne kitawa alipoota mu budde.Eggulo(Lwakuna) ‘FMU’ kyawaliriziddwa okulangirira Duncan Mubiru ng’omuwanguzi w’empaka  za Bwera Bistro SMC Challenge Rally ezaabadde Ssembabule ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw’ennaku  nnya ng’empaka ziwedde ekitabangawo mu byafaayo by’omuzannyo.Empaka zino zaavugibwa wansi w’etteeka nti teri ddereeva yali akkirizibwa kuvuga sipiidi esukka 35 buli ddakiika wabula oluvannyuma lw’empaka Omar Mayanja eyali amalidde mu kifo ekyokutaano yateekayo okwemulugunya eri abategesi ng’awakanya obuwanguzi bw’ali bakulembedde nti baasussizza mu sipiidi eyaligiddwa.Jared Kalera agamba nti obunafu bwa Kkampuni gye baawadde okulondoola sipiidi eya Intergrated Security System(ISS) ebyuma bya gikyankalanyeko kyokka n’etategeeza bategesi.“Emmotoka obwedda zirina obuuma obupima sipiidi kyokka nga ISS teyataddeko kyuma kibulondoola, awamu ekyuma kyatulaze nti Jas Mangati yabbye ekkubo kyokka bwe twalondodde ekyuma we ky’abadde kiraga, tewabadde kkubo, kale tewali bujjulizi bukakasa nti ani yakozesezza sipiidi esukka,” Kalera bwe yategeezezza.Agattako nti ‘FMU’ erina okulowooza ku kukyusa kkampuni ekola ku kulondoola sipiidi.Mubiru oluvannyuma lw’okulangirirwa yaweze ng’engule y’omwaka bw’agimaze kati atunuulira mpaka ziri ku lukalu lw’Afrika n’obuvanjuba bw’Afrika.Edward Kirumira ye yakulembedde ezisikira ku mipiira ebiri (2WD) n’addirirwa Ibrahim Lubega Ppasuwa.Engule y’omwaka kati ekulembeddwa Dancan Mubiru n’obubonero 190, Fred Kitaka Busulwa(175), Hassan Alwi(170),Omar Mayanja(140) ne Abdu Katete(105).

Kikankane ye Kyampiyoni wa Bwera Bistro SMC Challenge Rally

NewVision Reporter
Journalist @NewVision

Bya GERALD KIKULWE

Bwera Bistro SMC Challenge Rally 

Duncan Mubiru 0:55:54:17

JAS Mangat 0:56:18:52

Hassan Alwi 0:57:42:69

Abdu Kateete 0:59:52:41

Omar Mayanja 1:01:34:23

EKIBIINA ekiddukanya omuzannyo gw’emmotoka z’empaka mu Ggwanga (FMU) kyekokkodde ekitongole kya ‘Intergrated Security System’(ISS) ekyabadde kivunaanyizibwa ku byuma ebirondoola sipiidi baddereeva kwe bavugidde e Ssembabule okulemererwa ate ne kitawa alipoota mu budde.

Eggulo(Lwakuna) ‘FMU’ kyawaliriziddwa okulangirira Duncan Mubiru ng’omuwanguzi w’empaka  za Bwera Bistro SMC Challenge Rally ezaabadde Ssembabule ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw’ennaku  nnya ng’empaka ziwedde ekitabangawo mu byafaayo by’omuzannyo.

Empaka zino zaavugibwa wansi w’etteeka nti teri ddereeva yali akkirizibwa kuvuga sipiidi esukka 35 buli ddakiika wabula oluvannyuma lw’empaka Omar Mayanja eyali amalidde mu kifo ekyokutaano yateekayo okwemulugunya eri abategesi ng’awakanya obuwanguzi bw’ali bakulembedde nti baasussizza mu sipiidi eyaligiddwa.

Jared Kalera agamba nti obunafu bwa Kkampuni gye baawadde okulondoola sipiidi eya Intergrated Security System(ISS) ebyuma bya gikyankalanyeko kyokka n’etategeeza bategesi.

“Emmotoka obwedda zirina obuuma obupima sipiidi kyokka nga ISS teyataddeko kyuma kibulondoola, awamu ekyuma kyatulaze nti Jas Mangati yabbye ekkubo kyokka bwe twalondodde ekyuma we ky’abadde kiraga, tewabadde kkubo, kale tewali bujjulizi bukakasa nti ani yakozesezza sipiidi esukka,” Kalera bwe yategeezezza.

Agattako nti ‘FMU’ erina okulowooza ku kukyusa kkampuni ekola ku kulondoola sipiidi.

Mubiru oluvannyuma lw’okulangirirwa yaweze ng’engule y’omwaka bw’agimaze kati atunuulira mpaka ziri ku lukalu lw’Afrika n’obuvanjuba bw’Afrika.

Edward Kirumira ye yakulembedde ezisikira ku mipiira ebiri (2WD) n’addirirwa Ibrahim Lubega Ppasuwa.

Engule y’omwaka kati ekulembeddwa Dancan Mubiru n’obubonero 190, Fred Kitaka Busulwa(175), Hassan Alwi(170),Omar Mayanja(140) ne Abdu Katete(105).

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});