Cranes lwe yayiribya Abawalabu

Feb 10, 2021

NGA September 22, 1980 waabalukawo olutalo wakati wa Iran ne Iraq olwayitibwa 'Arab-Persian Conflict' olwakwajja okumala emyaka munaana, okutuusa ekibiina ky'amawanga amagatte lwe kyabatabaganya.

Cranes lwe yayiribya Abawalabu

George William Kigonya
Journalist @New Vision

NGA September 22, 1980 waabalukawo olutalo wakati wa Iran ne Iraq olwayitibwa 'Arab-Persian Conflict' olwakwajja okumala emyaka munaana, okutuusa ekibiina ky'amawanga amagatte lwe kyabatabaganya.

Mu kaweefube w'okujaguza n'okwongera obwasseruganda, Kuwait yategeka emizannyo (Kuwait Peace & Friendship Games) omwali n'omupiira. Mu mawanga ageetaba mu mupiira kwaliko; Guinea, Uganda, Lebanon, Iran, Iraq ne Yemen. Ekibinja A kyalimu; Kuwait, Lebanon ne Uganda ate mu B (Iran, Iraq, Guinea ne Yemen).

Cranes yayolekera Kuwait ng'erimu eddibu lya ggoolokipa Bright Dhaira, eyalwala nga ttiimu eneetera okusitula ne Jackson Mayanja eyali alongooseddwa olw'obuvune bwe yafuna. Zino z'empaka kapiteeni wa SC Villa, Paul Hasule 'V8' mwe yasookera okuduumira Cranes. Nga October 30,1989, eyali Pulezidenti wa Kuwait, Amir Sheikh Jaber Al Ahmad Al-Sabah, yaggulawo emizannyo gino zino mu Al Sadaqua Walsalam Stadium.

Mu mupiira ogwasookawo, Kuwait yawuttula Lebanon (5-0) sso nga ne Uganda yatandika bulungi ogwayo ng'ekuba Lebanon (2-0) ezaateebwa Umar Senoga ne Magid Musisi. Uganda yazzaako Kuwait ne balemagana (1-1). Mu kibinja A, Kuwait ne Uganda ze zaayitamu okwesogga semi ne zeegattibwako Iran ne Iraq okuva mu kibinja B.

Ku semi, Cranes yaggyamu Iran ku ggoolo 7-6 eza peneti ate Kuwait n'ewandulamu Iraq. Cranes ne Iraq zaayambalagana ku fayinolo nga November 12,1989 era Bannayuganda baagwota buliro ku UTV. Mu ddakiika ya 29, Sula Kato yaleeta ekkoona eryasibira ku ngatto ya Steven Bogere eyali wabweru w'entabwe.

Bogere yaguteerawo Geoffrey Higenyi eyagubuuka okubuzaabuza omuzibizi wa Iraq, awo Hasule, eyajja ng'adduka n'asindirira ennyanda okuva mu yaadi 40, mu ggoolo ya Iraq. Wabula oluvannyuma Iraq yateeba ey'ekyenkanyi ne guggwa (1-1). Mu Peneti, Iraq yawangula 4-3 n'etwala ekikopo.

ABAZANYI ABAATWALIBWA; SADIQ WASSA; Ye yasookanga mu ggoolo era yali kafulu mu kukwata peneti. Omwaka ogwo yasiimibwa ekibiina kya bannamawulire abasaka ebyemizanyo (USPA) olw'okwolesa omutindo. TOM MUSOKE; Yali ggoolokipa wa Nsambya ng'aleeteddwa okusikira Dhaira, wabula emipiira gyonna yagimala ku katebe. ISAAC NKAADA; Omuzibizi ono okuva mu Express yasambako emipiira ebiri n'akaligibwa olw'okuweza kaadi.

PAUL HASULE 'V8'; Yateeba ggoolo erirwawo ng'ejjukirwa mu byafaayo by'omupiira gwa Uganda nga ne mu Buwarabu baalwawo nga bakyagitenda. RICHARD MUGALU (COFFEE); Yatandikanga mu nnamba ssatu. WILLIAM NKEMBA (VILLA); Ye yali asinga obuto ku ttiimu eno gye yeegattako mu 1987 nga wa myaka 20.

SAM KABUGO (NSAMBYA); Yasookera ku katebe mu mipiira egyasooka okutuusa Nkaada lwe yakaligibwa. GEOFFREY HIGENYI (SC VILLA); Yali muto wa Hasule. Be bamu ku bazibizi abaatandikirwangako olw'obuvumu bwe yasambisanga. PAUL NKATA (EXPRESS); Yali kapiteeni wa Express naye obuvune bwamulemesa, George Nsimbe n'alyawo ennamba ye.

GEORGE NSIMBE (KCC FC); Yapaatikibwako lya 'Bomber' olw'emiriro gye yakubanga mu ggoolo. Emipiira gyonna yagizannya. ROBERT ALORO (NSAMBYA); Omutindo gwe yayolesa gwali musuffu, Express n'emukansa. RONNIE VVUBYA (VILLA); Yali asobola okusamba ennamba zonna mu maaso era mu mpaka zino yavaayo ne ggoolo 2. SULA KATO ( VILLA); Yali yakazibwako lrya 'Corner Specialist' olw'engeri gye yawetangamu amakoona. STEVEN BOGERE (VILLA);

'Boggie' nga bwe yali ayitibwa, yeyakola omukisa ogwavaamu ggoolo ya Hasule ku fayinolo. UMAR SENOGA (EXPRESS); Yali muteebi wa ntomo, era yateeba nga Cranes ewangula Lenanon. MAGID MUSISI (SC VILLA); Yali muyizzitasubwa, era mu mpaka zino yamalako ne ggoolo 2. kigonyageorge13@gmail.com 0772832149

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});