Mwannyina wa Bobi Wine atutte omubaka wa Gomba mu kkooti

Mar 11, 2021

Mwanyina wa Bobi Wine eyavuganya ku ky'omubaka omukyala owa Gomba Betty Ssentamu aggudde omusango ku mubaka wa Gomba omukyala n'akakiiko k'ebyokulonda nga awakanya ebyava mu kalulu akawedde. Betty Ssentamu ng'ayita mu munnamateeka we Prim Kiconco owa Imperium company advocates agudde omusango ku mubaka wa Gomba omukyala Sylvia Nayebale ogw'okumubba akalulu n'akakiiko k'ebyokulonda okumulangirira mu bukyamu ng'ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwe alangirirwe nga omuwanguzi. Ssentamu okuwaaba kwe akwesigamizza ku mivuyo emingi gy'agamba egyetobeka mu kulonda akalulu ke nga 14th January womwaka guno okuli okukuba abawagizi be emiggo, okugulirira abantu abakuuma akalulu ke, abebyokwerinda okwetaba mu kulonda, omuwendo gwabalonzi ogw'asukka nga nabaamu baafa nebirala. Munnamateeka wa Ssentamu, Prim Kiconco ategeezezza nti byebasabye kkooti kuliko okusazaamu obuwanguzi bw'omubaka Nayebale erangirire Betty Sssentamu ku buwanguzi oba okutegeka okulonda okulala.

Mwannyina wa Bobi Wine atutte omubaka wa Gomba mu kkooti

NewVision Reporter
Journalist @NewVision
Mwanyina wa Bobi Wine eyavuganya ku ky'omubaka omukyala owa Gomba Betty Ssentamu aggudde omusango ku mubaka wa Gomba omukyala n'akakiiko k'ebyokulonda nga awakanya ebyava mu kalulu akawedde.
 
Betty Ssentamu ng'ayita mu munnamateeka we Prim Kiconco owa Imperium company advocates agudde omusango ku mubaka wa Gomba omukyala Sylvia Nayebale ogw'okumubba akalulu n'akakiiko k'ebyokulonda okumulangirira mu bukyamu ng'ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwe alangirirwe nga omuwanguzi.
 
Ssentamu okuwaaba kwe akwesigamizza ku mivuyo emingi gy'agamba egyetobeka mu kulonda akalulu ke nga 14th January womwaka guno okuli okukuba abawagizi be emiggo, okugulirira abantu abakuuma akalulu ke, abebyokwerinda okwetaba mu kulonda, omuwendo gwabalonzi ogw'asukka nga nabaamu baafa nebirala.
 
Munnamateeka wa Ssentamu, Prim Kiconco ategeezezza nti byebasabye kkooti kuliko okusazaamu obuwanguzi bw'omubaka Nayebale erangirire Betty Sssentamu ku buwanguzi oba okutegeka okulonda okulala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});