Ab’akatale k’abaazirwanako bawanjagidde Museveni ku babagobaganya

Feb 27, 2021

ABASUUBUZI abakolera mu katale k’abaazirwako e Wakaliga mu munisipaali y’e Lubaga bawanjagidde Pulezidenti Museveni aveeyo abagambire ku bakulembeze baabwe mu katale kano be balumiriza okubaliisa akakanja n’okubagobaganya mu katale. Omu ku baali bakolera mu katale kano, Joan Mayanja yalumirizza nti ssentebe w’akatale, Benon Bwambizo n’olukiiko lwe baamufuumula mu katale kano nga kati awezezza omwaka nga tebamukkiriza wadde okusembera ku mulyango gw’edduuka lye, wadde nga yabeegayirira waakiri bakkirize aggyemu ebintu bye naye baagaana. Mayanja yagambye nti bannaabwe bangi mu katale kano banyigirizibwa kyokka batya okwogera kubanga buli avaayo n’ayogera ng’abakulembeze bamugobaganyan’okumussaako ebintu by’atamanyiiko. Wabula Ssentebe Bwambizo yategeezezza nti tewali muntu gwe baali bagobye mu katale wadde okuwummuza awatali nsonga nga n’obuyumba bwe bagobamu abantu bw’ebwo obulimu abatayagala kusasula

Ab’akatale k’abaazirwanako bawanjagidde Museveni ku babagobaganya

NewVision Reporter
Journalist @NewVision

ABASUUBUZI abakolera mu katale k’abaazirwako e Wakaliga mu munisipaali y’e Lubaga bawanjagidde Pulezidenti Museveni aveeyo abagambire ku bakulembeze baabwe mu katale kano be balumiriza okubaliisa akakanja n’okubagobaganya mu katale. Omu ku baali bakolera mu katale kano, Joan Mayanja yalumirizza nti ssentebe w’akatale, Benon Bwambizo n’olukiiko lwe baamufuumula mu katale kano nga kati awezezza omwaka nga tebamukkiriza wadde okusembera ku mulyango gw’edduuka lye, wadde nga yabeegayirira waakiri bakkirize aggyemu ebintu bye naye baagaana. Mayanja yagambye nti bannaabwe bangi mu katale kano banyigirizibwa kyokka batya okwogera kubanga buli avaayo n’ayogera ng’abakulembeze bamugobaganyan’okumussaako ebintu by’atamanyiiko. Wabula Ssentebe Bwambizo yategeezezza nti tewali muntu gwe baali bagobye mu katale wadde okuwummuza awatali nsonga nga n’obuyumba bwe bagobamu abantu bw’ebwo obulimu abatayagala kusasula

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment

More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});