Palamenti ekungubagidde Bisaka

Feb 11, 2021

PALAMENTI ekungubagidde Omukama Ruhanga Owobusobozi Desteo Bisaka ababaka gwe boogeddeko ng’eyayigiriza abantu okukola n’okugatta abantu nga bali bumu.

Omugenzi Bisaka

Kizito Musoke
Journalist @New Vision

PALAMENTI ekungubagidde Omukama Ruhanga Owobusobozi Desteo Bisaka ababaka gwe boogeddeko ng’eyayigiriza abantu okukola n’okugatta abantu nga bali bumu.

Erick Musana (Buyaga East) yayogedde ku mugenzi ng’eyakolerera ennyo okwegatta kw’abantu era n’akibunyisa mu mawanga ga Afrika gonna. Okufa kwe kwakosa nnyo ekitundu kuba yali akubiriza abantu okubaako pulojekiti ze beetandikirawo.

Epellanza Baguma (mukazi/Kyenjojo) yayogedde ku Bishaka ng’abadde omwagazi w’emirembe.

Yatenderezza enkulaakulana gy’abalekedde ng’amasomero n’amalwaliro n’agamba nti yali yateekawo ennaku ssatu zokka mu mwezi abantu mwe basabira ng’ezisigadde zaakukola. Yasabye Gavumenti etwale mu maaso pulojekiti z’omugenzi kuba zigasa abantu.

Elizabeth Karungi (mukazi/Kanungu) yagambye nti Bisaka yalina amaanyi ag’enjawulo agawonya abantu ebizibu ebyenjawulo. Abagoberezi ba Busobozi abali e Kanungu yaboogeddeko ng’abakozi ennyo.

Abagoberezi ba Bisaka babadde bamutwala nga ‘katonda’ era n’okutuusa kati bakkiriza nti tafanga wadde ng’omubiri gwe gwakoowa.

Enzikiriza ya Bisaka egambibwa okutandika nga February 22, 1980 nga lwe lunaku Bisaka lw’agambibwa nti yakwata ku muwala eyali omulwadde ennyo n’awonerawo.
Bisaka yafiira mu ddwaaliro lya Aga Khan e Kenya nga January 13, 2021 kyokka aba ffamire ye ne bamubika nga January 23, 2021.

Olutuula lw’eggulo (Lwakusatu) olwakubiriziddwa Sipiika Rebecca Kadaga ababaka era baakungubagidde Umukhuka eyali omukulembeze w’Abagisu ow’ennono.

Yalondebwa ku bufuzi mu 2015 ng’adda mu kifo kya Wilson Wamimbi eyasooka ku bukulu mu 2010. Kyokka ekisanja kye kyaweddeko nga tannaba kuwaayo ntebe eri Umukhuka omulala kuba bafugira mu kisanja kya myaka etaano.

Gen. Moses Ali yayogedde ku Umukhuka ng’abadde omukulembeze omugezi afubye okuteekawo enkulaakulana ekyusa Abaamasaba n’eggwanga lyonna.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});