NRM yandikozesa akavuyo ka opozisoni okulya Lubaga South

Oct 19, 2020

MUNNA NRM, Charles Keneth Male atandise okubuguma oluvannyuma lw’okulaba ng’amuvuganya mu Lubaga South bayitiridde obungi ate nga ba ludda lumu oluvuganya gavumenti.

NRM yandikozesa akavuyo ka opozisoni okulya Lubaga South

NewVision Reporter
Journalist @NewVision

MUNNA NRM, Charles Keneth Male atandise okubuguma oluvannyuma lw’okulaba ng’amuvuganya mu Lubaga South bayitiridde obungi ate nga ba ludda lumu oluvuganya gavumenti.

Abamubalira ekibalo ky’akalulu kati bamulaga nti alina kufuba okulaba ng’abawagizi ba NRM bonna bamuyiira obululu olwo amegge aba opozisoni abawerera ddala 14.
Mu Bukedde w’eggulo, twakulaze nti Lubaga South y’emu constituency ezisinza omuwendo gw’abeesimbyewo ku kifo ky’omubaka wa palamenti mu Kampala. Bano bali 14 nga kuliko, Aloysius Mukasa Talton Gold, Paul Kato Lubwama, aliyo kati, Siraje Kifampa, Dennis Mbidde Sebuggwaawo, Eugenia Nassolo, John Ken Lukyamuzi, Derrick Lufunya, Kiyingi, Samuel Walter Lubega Mukaaku, Habib Buwembo, Adam Mugga Swift, Grace Nakanwagi ne Kenneth Charles Male.

Kato Lubwama

Kato Lubwama

Aba NRM balowooza nti yadde omuntu waabwe erinnya lye terivuga nnyo ng’abalala, alina obumanyirivu kuba azze yeesimbawo naye n’awangulwa. Bagamba nti okugabanya obululu okugenda okubaawo mu b’oludda oluvuganya, tewali kuwannanya ajja kuwangula.

Oluvannyuma lw’okusunsulwa akakiiko k’ebyokulonda, ku Lwokuna n’Olwokutaano, abeesimbyewo buli omu yawaze era ng’alaga nti obuwanguzi bwe bumuli mu ttaano, n'abalonzi nabo amaaso bagateze ku ani gwe bagamba anaafuna enkizo okuwangula akalulu. Tutadde abeesimbyewo bano ku minzaani n’emikisa gya buli omu okuyitawo.
Paul Kato Lubwama agenda kusanga obuzibu okukakasa abantu be yasaba ku mulundi guli nti bamuwe akalulu agende naye alyeko era ne bakikola, ate ne ku mulundi guno okumwongera, wadde ng’alina enkizo nti ye omubaka aliyo kati.

Ono ng’amaze okwewandiisa wiiki ewedde, yayisizza ebivvulu n’abawagizi ekyawalirizza Poliisi y’e Kabowa okumukwata n’emutwala e Katwe gye yasibiddwa wabula oluvannyuma n’ayimbulwa. John Ken Lukyamuzi wadde yali musajja wa maanyi, abalonzi naye bamulaba ng’atamatira olw’ebbanga eddene lye yamala mu palamenti n’emyaka gye ate okuba nga akyayagala okumulonda.

Aloysius Mukasa (NUP), aleeseewo ebbugumu lingi mu kalulu ka Lubaga South kubanga akataddemu ssente n’okugabira abantu ebirabikako omuli okuwa aba bodaboda Helmet, okugaba manvuuli, okuteeka mu bantu ssente, abamu ku balonzi kye bagamba nti abawa nabo gwe bajja okuwa, ate n'ekibiina mwajjidde ekya NUP kiganzi mu bantu naddala Bannakampala. Kale kino kimuteeka ku mwanjo mu kalulu kano.

Charles Kenneth Male, (NRM): Ono yeesimbawo emirundi egiwerako ng’awangulwa, wabula ssinga aba NRM baba bumu ne bamuyiira akalulu, ku kibalo aba kwali kubanga ye yekka owa NRM mu lwokaano, e 13 abasigadde ba bibiina birala kitegeeza bajja kubugabana.

Eugenia Nassolo, (DP), tosobola kumubuusa maaso, olulyo mw’ava okubeera omumbejja kimuwa okwagalwa ate yenyigira nnyo mu mirimu gya Klezia katolika, wabula abalonzi bamukubamu ebituli nti mukodo nnyo atavaako kake, nti kati olwo bw’anaatuuka mu palamenti kinaaba kitya?.

Samuel Walter Lubega Mukaaku, (SDP): Y’omu ku bagenda okusanga olusozi olunene, okukyusa ekibiina mu bunnambiro. Yava mu NUP olw’okumumma kaadi n’agenda mu SDP, ate n’abantu ba Lubaga South tebamumanyi bulungi nga bagamba nti ne w’asula tebamanyiiwo.

Grace Nakanwagi, (Ind): Ono munnamateeka omutendeke era ye yasooka okuweebwa kkaadi ya FDC kyokka oluvannyuma ekiwayi ekimu ne kimuwakanya nga kigamba nti Lubaga South yeetaaga omuntu omulwanyi wadde nga ye yasooka okutimba ebipande. Bwe yalemeddwa okuyitawo mu kamyufu ka FDC, yasazeewo okwesimbawo nga talina kibiina. Abantu bangi babadde tebamumanyi era abatunuulizi b’ebyobufuzi bagamba nti akyalina olugendo okusima omusingi.

Habib Buwembo, (FDC), yeesimbawo omulundi oguwedde n’atawangula, yalwana nnyo okuggya omubaka Kato Lubwama mu palamenti ng’agamba talina buyigirize, azze yeetaba mu ntalo okulwanirira omuntu wa wansi naddala amateeka agamunyigiriza omuli n’emisolo, naye akyalemeddwa okutuuka ennyo ku mitima gya Bannalubaga South.

Buwembo, era yasobodde okumegga munnamateeka Grace Nakanwagi, mu musango gwe yamuwawaabidde wamu n’ekibiina kya FDC, olw’okutegeka akamyufu k’anaakwatira ekibiina kkaadi ku kifo ky’omubaka wa Lubaga South, ate nga yali yagabwa dda.

Nakanwagi, agamba nti abaategese akamyufu oluvannyuma ne balangirira Buwembo, ng’omuwanguzi, baakikoze mu bukyamu era ye nsonga eyamututte mu kkooti wabula ebyembi omulamuzi wa kkooti Enkulu ekola ku misango gy’engassi, Mike Elubu, n’agugoba. FDC egamba nti nga tebafudde ku ddiini ye, oba ssente, Buwembo gwe bagenda okuwagira. Derrick Lufunya, (Ind). Muvubuka muto, nzaalwa ya kitundu, naye tanamanyika nnyo mu bantu.

Dennis Mbidde Sebuggwaawo, munnabyamizannyo, akyali mupya mu by’obufuzi wadde nga bamumanyi nnyo mu mizannyo. Alina olugendo okumatiza abantu.
Adam Mugga Swift, mupya mu by’obufuzi, azze asuubiza Bannalubaga okubawa ssente okutali magoba wadde omusingo beekulaakulanye, naye kino baabadde tebannakigula, bakiyita kamasu ka by’obufuzi.

Siraje Kifampa, JEEMA ne ku mulundi guli yeesimbawo, ye mwogezi w’omuzikiti gw’e Nakasero, alina enkizo naddala mu Basiraamu. Kifampa yeewandiisa ku lunaku lwe lumu (Lwakuna) ne Kato Lubwama era ne yeewera okumuwangula kubanga alemereddwa okukola ku nsonga eziruma abantu b’e Lubaga. Abalala bakyali bapya era beetaga okusima omusingi kwe bazimbira.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});