Bannabayabufuzi mutuyambe tufune amazzi amayonjo e Nakiwogo

Dec 04, 2020

ABATUUZE b’e Ntebe mu butundu by’e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n’abazirakisa okubayamba basobole okufuna amazzi kubanga kizibu kya maanyi mu bitundu bino.

Bannabayabufuzi mutuyambe tufune amazzi amayonjo e Nakiwogo

Godfrey Ssempijja
Journalist @New Vision

ABATUUZE b’e Ntebe mu butundu by’e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n’abazirakisa okubayamba basobole okufuna amazzi kubanga kizibu kya maanyi mu bitundu bino.

Bano nga bakulembeddwa Cansala w’e Lugonjo Nakiwogo, Tadeo Kibirige
yategeezezza nti kituufu ebitundu bino tebalina mazzi era nga mu kiseera kino bagakima ku mwalo omucaafu era nga bagagabana n’ente.

Abatuuze baategeezezza nti amazzi ga taapu ge balina bagakima wala ate ga buseere ng’ekidomola kya 200/- ku 300/- noolwekyo beetaaga okuyambibwa bafune amazzi amayonjo.

Wano Mmeeya w’e Katabi, Ronald Kalema yakwataganye ne Most Venerable
Bhante (Kaboggoza) okusobola okugabira abatuuze amazzi amayonjo.

 Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza) yategeezezza nti oluvannyuma
lw’okumala ebbanga nga talina mazzi yabonaabona nnyo n’asalawo okuzimba
nayikonto ku kitebe kyabwe e Galuga naye n’asalawo n’okutandika okuzimbira
abantu nayikonto mu bitundu bya Katabi Town Council n’ebirala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment

More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});