▶️ Ddiini wa Lutikko atuuziddwa

Feb 23, 2021

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, atuuzizza ddiini wa Lutikko, Rev Canon Jonathan Kisawuzi Ssaalongo, n’amukuutira okwogeranga ku nsonga eziruma Bannayuganda.

▶️ Ddiini wa Lutikko atuuziddwa

Joanita Nangonzi
Journalist @New Vision

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, atuuzizza ddiini wa Lutikko, Rev Canon Jonathan Kisawuzi Ssaalongo, n’amukuutira okwogeranga ku nsonga eziruma Bannayuganda.

Luwalira yategeezezza nti Kisawuzi atuuzidda mu biseera ebirimu okuwambibwa kw’abantu n’ekittabantu ekiyitiridde ensangi zino, nga bino byonna alina okuvaayo n’abyogerako n’eddoobozi eddene.

Omulabirizi bino yabyogeredde ku mikolo gw’okutuuza ddiini e Namirembe ku kkanisa ya St Paul Cathedral, ku Ssande.

Gyetabiddwako abaweereza ab’enjawulo n’abakungu okuva mu Bwakabaka bwa Buganda okubadde Robbert Waggwa Nsibirwa, omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Patrick Mugumbule, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Ritah Namyalo, eyali minisita eyawummula, Rt. Rev Samuel Balagadde Ssekadde, omulabirizi eyawummula, Henry Ssekabembe, minisita w’ebyemizannyo e Mmengo, n’abalala.

Luwalira yakuutidde ddiini Kisawuzi okubeera omukkakkamu ng’awuliriza abantu bye bamugamba kuba waliwo bingi ebibaluma, omuli abagambibwa okubbibwa obululu nga ne mu kiseera kino bakyanakuwadde.

Abalala z’e ffamire z’abantu abaawambibwa n’ezaabo abattibwa buli lunaku, sso nga waliwo n’abafudde Corona.

Yayongeddeko nti abantu bangi abalina ebiwundu omuli n’abakulembeze ba Palamenti ababadde baweereza n’obwesigwa, wabula nga tebazzeemu kubalonda olw’okubalowooleza nti tebajja kusobola kuweereza.

Yakuutidde Bannayuganda okusiima ababaka abalina ebirungi bye babakoledde, abaawangudde akalulu nabo n’abagamba okwebuuza ku babaddeko awamu naabo be bawangudde.

Yalaze obwennyamivu olwa mmotoka ze bawambiramu abantu n’agamba nti mu nnaku zino ebika bya mmotoka ezo baabitiira ddala, era buli aziraba nga zitambula yennyamira.

Yavumiridde abakuumaddembe abatulugunya abantu nga babakuba, wabula ne yeebaza abo abavuddeyo okwetondera eggwanga olw’ebikolwa byabwe.

Rev. Canon Kisawuzi yeebazizza Katonda olw’okuyita mu mulabirizi w’e Namirembe n’alondebwa mu kifo kino. Yeebazizza n’omulabirizi eyawummula Misairi Kawuma, Rt. Rev. Samuel Balagadde Ssekadde, mukyala we, Ruth Kisawuzi n’Abakristaayo mu Bussabadinkoni bw’e Ntebe gy’abadde okumala emyaka 17.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});