Bakira ayimba oluyimba ng'eno bwe bamuyambako nga oyinza okulowooza nti ennyimba be baaziyimba anti nga bamanyi lunyiriri ku lunyiriri.
Kizz Daniel ng'akuba abantu omuziki.
Abamu be twafunye akakisa okwogerako nabo baatutegeezezza nti bagenda mu bivvulu bya Banigeria kubanga bo balwawo okubalaba okwawukanako n'abayimbi b’awano be basanga kumpi buli wiikendi.
Kizz bw'afaanana
Abayimbi abalala abaayimbye kwabaddeko Navio, Ykee Benda, Laika n'abalala bangi.
Kyana kiwala nga kyetuzze ku Kizz Daniel eyakuyimbira 'Buga'