OMUYIMBI Vyroota, ekyamutuuseeko e Iganga akinyumya nga lutabaalo. Bakanyama be, baasiiwuuse empisa ne balwana n’abadigize abaabadde bazze okucakala ku ebbaala ya
Eno we waabadde akabaga ka Master Piece Mix Tape Party akaategekeddwa DJ Sulpha era nga Vyroota y’omu ku baapangisiddwa okuyimba. Wabula mu kavuyo akangi, eggaali y’omuyimbi ono yayiye eby’okunywa by’abadigize.
Bano baataddewo embeera era omukono ne guseka (ntegeeza eng’uumi okunyooka) okutuusa bakanyama b’ebbaala eno bwe baayingiddemu okutaasa embeera.
Ye Vyroota yalabise ng’asobeddwa, yalekeddwa mu bbanga anti nga ne w’alina okuyisa mmotoka okuviira ekibambulira baalisazeeko nga tebakkiriza mmotoka eyitawo.