Bya Ignatius Kamya
OMUYIMBI Vivian Tendo asabye abawagizi be okumusonyiwa eky’okuba nga yatadde obubaka eyali maneja we bw’abadde amusindikira ku mutimbagano.
Ono bwe yabadde agenze ku ddwaaliro l’ye Kawempe okutwalira abakyala ebyokulya bwe yabuuziddwa bannamawulire lwaki yakola ekintu bwekityo yagambye nti kibadde kimususseeko kubanga abadde afuna obubaka obumutiisatisa ne ffamire ye okuva ewa Oman Rafik.

Ebimu Ku Bintu Vivian Tendo Byeyatute Mu Ddwaaliro E Kawempe.
Agamba nti yayagadde abawagizi be okukimanya nti ssinga wabaawo obuzibu bwonna obumutuukako oba omu ku mikwano gye awookutandikira balinawo.Kinajjukirwa nti Vivian Tendo yava mu kikoosi kya Oman Rafik ebbanga lya mwezi nga gumu emabega ekitasanyusa Oman Rafik.
Rafik agamba nti yali amukoledde bingi okulaba ng’ayitimuka okutuuka ku ddaala lyaliko kyokka mbu okuva bwe yava e SouthAfrica yeeyisa mu ngeri etajja