Kasalabecca

Ssuuna Ben azzeeyo ayuuguumye Nansana n'endongo y'ebinyaanyaanya

SSUUNA Ben azzeeyo ayuuguumye Nansana n’ebitundu ebiriraanyeewo mu ndongo y’ebinyaanyanyaanya egenda okubeera ku Makutano Gardens ku Lwomukaaga nga February 22.

Ssuuna Ben azzeeyo ayuuguumye Nansana n'endongo y'ebinyaanyaanya
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

SSUUNA Ben azzeeyo ayuuguumye Nansana n’ebitundu ebiriraanyeewo mu ndongo y’ebinyaanyanyaanya egenda okubeera ku Makutano Gardens ku Lwomukaaga nga February 22.

 Emiryango gyakuggulwawo misana era okuyingira kwa 10,000/- olwo abantu basimbe akagere ppaka nkeera ku Ssande. 

Ssuuna Ben Ne Munne Mbaziira Tonny Mu Lukung'aana Lw'abannamawulire.

Ssuuna Ben Ne Munne Mbaziira Tonny Mu Lukung'aana Lw'abannamawulire.

Mbaziira Tonny, y’omu ku bawerekedde ku Ssuuna era agamba nti endongo ya JJ Sound y’egenda okukozesebwa okuli n’ebyuma ebipya ebisabuukululwa ku olwo. 

Ssuuna Ben awagiddwa Bukedde, BclaraH Property Services Ltd, Sabula, Skypins, QC e Nansana n’abalala. Waakubaayo abayimbi ne ba Dj, bannakatemba nga bakulembeddwa Mary Hearts Tumbeetu n’ebirala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Binyaanya
Ssuuna Ben
Nansana