Sheilah agaanye eby'okuyita muka kitaawe maama!

FRANK Gashumba, yalaze olubiriizi lwe wiiki ewedde, bwe yakyadde mu bazadde b’omuwala Patience Mutoni Malaika era ebifaananyi na kati bikyetala ku mikutu gya yintanenti.

Sheilah agaanye eby'okuyita muka kitaawe maama!
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasala #Sheilah Gashumba #Frank Gashumba #Mukazi #Kuwasa

FRANK Gashumba, yalaze olubiriizi lwe wiiki ewedde, bwe yakyadde mu bazadde b’omuwala Patience Mutoni Malaika era ebifaananyi na kati bikyetala ku mikutu gya yintanenti. 

Gashumba Ne Mutoni Gwe Yawasizza.

Gashumba Ne Mutoni Gwe Yawasizza.

Wano abalabi, we baasinzidde okuweereza ebigambo ebitali bimu era ne weesowolayo omu, eyabuuzizza muwala wa Gashumba (Sheilah Gashumba) nti oba omugole kitaawe gwe yaleese, agenda kumuyita lya maama.

Naye yabaanukudde nti ekyo tekijja kusoboka kuba omuntu yekka gw’ayita maama, yooyo eyamuzaala.

Wabula Sheilah yayozaayozezza Malaika olw’okutuuka ku kkula eryo n’afuna n’omusajja ow’ekitiibwa.  Yasuubizza okumubeererawo wonna w’amwetaagira.

Login to begin your journey to our premium content