Oba Jeff Kiwa ne Dax Vibes babala kaki?

DAX Vibes muto wa Bobi Wine (Pulinsipo Robert Kyagulanyi Ssentamu) era y’omu ku bayimbi abalinawo ennyimba ezitambula ka

Oba Jeff Kiwa ne Dax Vibes babala kaki?
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Jeff Kiwa #Dax vibes #Kubala #Kasalabecca

DAX Vibes muto wa Bobi Wine (Pulinsipo Robert Kyagulanyi Ssentamu) era y’omu ku bayimbi abalinawo ennyimba ezitambula kati. 

Tebateng'ana ne Jeff Kiwa eyali maneja wa Sheebah. Era Jeff lwe yasisinkana Bobi Wine e Busaabala gye buvuddeko kigambibwa nti Dax Vibes ye yamumutuusaako. 

E Bungereza, Dax vibes era yalabiddwaako ne Jeff, abamu ne balowooza nti oba ayinza okumugatta mu kibiina kya Team No Sleep (TNS). 

Era gye buvuddeko, Jeff yalabiddwaako ng’atambulira mu mmotoka ya Dax Vibes ekika kya Noah. Kyonna kye baliko kikulu.