Shakira Shakira yeetegudde Uganda n'ada mu Amerika mu nkukutu

OMUYIMBI Shakira Shakira azzeeyo mu Amerika muj nkukutu.

Shakira Shakira yeetegudde Uganda n'ada mu Amerika mu nkukutu
NewVision Reporter
@NewVision
#Shakira Shakira #Muyimbi #Amerika #Nnyimba #Kuyimba

OMUYIMBI Shakira Shakira azzeeyo mu Amerika muj nkukutu.

Yagenze ku kisaawe e Ntebe nga yeekweka era nti  n’abaamuwerekeddeko 3 yabalayizza obutasaasaanya buvidiyo bwe wadde okumulaalaasa nti agenze.

Era yabalagidde nti  ababuuza gy’ali, babagambe nti yagenze kukuza mazaalibwa ga mwana we.

Kyokka waliwo agatambula nti yeetegudde oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti ekitongole kya UCC essaawa yonna kimusalako olw’ennyambala ye eyeesittaza n’ennyimba ze ez’obuwemu.

Login to begin your journey to our premium content