OMUYIMBI Shakira Shakira akubye abadigize omuziki ku Governors Hotel e Mukono n’abaleka nga bamatidde.
Shakira yeegasse ku Mulia Band omuli abayimbi abasanyusa abantu ku Governors Hotel buli Lwakutaano ekiro olwo ne gubula asala.
Shakira (wakati) Ng’asanyusa Abadigize Ku Governors Hotel E Mukono
Bano beegattiddwaako abawala abato bamuzibe nga nabo bali mu Mulia Band nga bano Katonda yabawa maloboozi agayimba okukira ennyonza.
Governors Hotel kifo ekisanyukirwamu ekiri mu kibuga ky’e Mukono ng’oggyeeko eky’okubeera n’ebisulo, emmere eteekebwateekebwa ebeera nnungi okuzaama. Balina ne jjiimu n’ekifo mwe bakolera masaagi.