Kasalabecca

Sarah Shortie atabukidde eyali muninkini we

MUYIMBI Sarah Shortie asabye eyali muninkini we okukomya okwogera ebitakwatagana.Sarah Shortie, yabadde abuuzibwa ku Hassan Luwagga eyali muninkini we era manejawe eyagamba nti ayagala badding’ane kyokka ye Sarah agamba nti tekikyasoboka.

Sarah Short
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MUYIMBI Sarah Shortie asabye eyali muninkini we okukomya okwogera ebitakwatagana.
Sarah Shortie, yabadde abuuzibwa ku Hassan Luwagga eyali muninkini we era maneja
we eyagamba nti ayagala badding’ane kyokka ye Sarah agamba nti tekikyasoboka.

“Eky’okubeera nga naliko mu mukwano naye, sikyegaana naye ebyo byakoma.

Wabula
kinnuma nti agenda ku mikutu egy’enjawulo ng’asaasaanya olugambo nga bwe twali mu

mukwano naye, ekitali kirungi,” Sarah Shortie bw’agamba. Yayongeddeko nti abantu
baawukana bulijjo, buli omu n’akwata agage awatali kulondoola mulala naye kimuluma nti
ye, eyali muninkini we, akyamulemeddeko.
Yategeezezza nga ye bw’atadda mabega mu bintu bya laavu nti era bw’aba ayagala kukola linnya nga kye kimwogezaako, naye atandike okuyimba bamumanye

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: