Owa Boda Boda omwenge gumusinzizza amaanyi!..

OMUVUZI wa Bbooda eyanywedde omwenge tegumuganyizza kutuuka waka n'agwa ku kkubo ne pikipiki ye.

Owa Boda Boda omwenge gumusinzizza amaanyi!..
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
OMUVUZI wa Bbooda eyanywedde omwenge tegumuganyizza kutuuka waka n'agwa ku kkubo ne pikipiki ye.
 
Ggaayi ono eyategeerekeseko lya Moses mutuuze w'e Kawempe mu Ddobi zooni  yanywedde omwenge (walagi) okukkakkana nga gumusudde ekigwo mu mwala.
 
Abadduukirize baamuyambye ne bamuggyamu kyokka yabadde yaakasimbula n'agwa ku kkubo n'afuuka ekisekererwa .
 
Jane Namuddu omu ku bamanyi Moses yagambye pikipiki avuga ya looni naye omwenge gwamwefuga.
 
Wano we yasabidde abasaabaze okusooka okwetegerezza aba Bbooda be bagenda okulinnya kuba abamu bakozesa ebitamiiza n'ebiragalala ebibaviirako obukola obubenje. 
 
Wano Ng'omuzira Kisa Amuggyeewo Amutwala Ewuwe

Wano Ng'omuzira Kisa Amuggyeewo Amutwala Ewuwe

Moses  Ng'agudde Ku Kkubo Ne Piki Piki Ye Mu Dobbi Zooni Ku Kkubo Lya Nalunga  (9)

Moses Ng'agudde Ku Kkubo Ne Piki Piki Ye Mu Dobbi Zooni Ku Kkubo Lya Nalunga (9)