AVA Peace, y’omu ku bayimbi abato abaliko wabula okulinnya ku siteegi ayimbe ku kivvulu kya Roast and Rhyme ekyabadde e Lugogo kyamukaluubiridde.
Yakanyizza kwewozaako nga bw’ava e Bungereza era alina okulinnya ku siteegi nga naye b’abigamba tebabiwulira.
Winnie Nwagi ye yamutaasizza n’amuyita bayimbe oluyimba lwa ‘Bakireke’, olwo Ava Peace n’akkakkana omutima naye ng’eky’obutayimba, kyabadde kimulidde.