Omuyimbi omuto, Jovia K atuuzizza 'mmitabookisi' ku mudigize n'amukubisa amasannyalaze

OMUYIMBI omuto Jovia K ng'amajjuvu ye Jovia Kabanda atuuzizza "Ttabbo"ku mudigize n'amukubisa amasanyalaze.

Omuyimbi omuto, Jovia K atuuzizza 'mmitabookisi' ku mudigize n'amukubisa amasannyalaze
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Jovia K olwalinnye ku n'agamba nti Katonda yamulungamu ebirungo by'omukwano ng'ajjudde mu byonna  era annyumirwa nnyo akazannyo ng'afunye  omusajja eyatuuzibwa Kojja.

Wano n'asaba omusajja eyeekakasa alinnye siteegi bannyumirwe ekiraavulaavu ng'ono olwesowoddeyo n'amukozesa.

Jovia K yabadde mu nnyimba ze ezinnafusa abasajja abeekaliza ku bakazi kyokka ne babaleka mu masang'anzira g'omukwano.

Ayimbira mu Vision Hero eya Mmeeya w'e Kyengera, Sir Mathias Walukagga bino ng'abikoledde mu kifo ekisanyukirwamu ekya Nana Hotele e Lukaya mu Kalungu.